TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja eyansiiga siriimu eddagala yalimiranga mu nkukutu

Omusajja eyansiiga siriimu eddagala yalimiranga mu nkukutu

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2016

Ono okumuganza tetwekebeza, wabula ye alabika yamanya nga bw’alina akawuka olw’ensonga nti yali ku ddagala era ng’alinywera mu nkukutu.

Nalukwago 703x422

Nalukwago

NZE Specioza Nalukwago, mbeera Banda mu Busiro. Kati myaka esatu bukya ntegeera nga bwe nnina akawuka ka siriimu.

Nnasooka ne nfuna enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Omusujja ogwa buli kadde, embiro, amaanyi okunzigwamu n’embeera endala zanzingako.

Bino byonna byantuukako nga simanyi nti nnyinza okuba n’akawuka ka siriimu. Eyansiiga obulwadde yali musajja gwe nnaganza oluvannyuma lwa baze gwe nnali mmaze naye emyaka egisukka mu 20 okunfaako.

Ono okumuganza tetwekebeza, wabula ye alabika yamanya nga bw’alina akawuka olw’ensonga nti yali ku ddagala era ng’alinywera mu nkukutu.

Embeera eno ey’obulwadde bwe yanzingako abamu ku bantu abaali bamanyi ku mbeera ye ey’obulwadde baamutuukirira ne bamusaba antwale mu ddwaaliro banzigyeko omusaayi. Yakkiriza era bansanga n’akawuka.

Abasawo banteeka ku ddagala lya septrine n’oluvannyuma ARVS. Munnange ono ekiseera kyatuuka n’afa Wabula okuva lwe nnatandika eddagala obulamu bwakomawo. Eddagala linkoledde kubanga mu kiseera kino sikyalina wannuma.

Nsobola okukola emirimu gyange egy’okulima, okulabirira bazzukulu bange n’okukola emirimu emirala.

Ebirala ebinnyambye okubaawo kwe kweriisa obulungi, okwesonyiwa ensonga z’abasajja, okuva ku bitamiiza naddala omwenge n’obuteekubagiza. Alina amagezi g’ampa ku nsonga y’obulwadde ndi ku ssimu: 0787592606

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...