TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Omuko’ antutteko omukazi n’omwana

‘Omuko’ antutteko omukazi n’omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

ABASAJJA tulina ennaku! Nze omusajja gwe bannyanjulira ng’omuko anzibyeko omukazi n’omwana, kati nneemagaza.

Shafic 703x422

‘Omuko’ antutteko omukazi n’omwana

ABASAJJA tulina ennaku! Nze omusajja gwe bannyanjulira ng’omuko anzibyeko omukazi n’omwana, kati nneemagaza.

Nze Shafiki Lutalo, 27 nga ndi mutuuze w’e Kawanda. Omulimu nkola gwa butembeeyi. Mu 2012 nafuna Namaganda bwe twasiimagana era n’annyanjula mu bazadde be ne batuwoowa ku muzikiti e Masaka.

Katonda yatuwa omwana asooka eyali omulenzi kyokka n’afiira mu buliri ng’alina emyezi ebiri gyokka.

Nafuba nga bwe nsobola ne tufuna omwana omulala. Ono muwala era kati awezezza emyaka ebiri. Mukyala wange mbadde simujuza era namuzimbira n’ennyumba ey’amaka nga njagala akulizeemu omwana wange.

Nali nnyumirwa laavu yaffe kyokka baliraanwa bampa olugambo nti bwe nva awaka, mukyala wange ayingiza omusajja.

Nasooka kuwakana kyokka lumu namusiibula nti ngenze kukola ne mmalayo essaawa emu yokka ne nkomawo. Kye nalaba kyankuba wala!

Kalema gwe baali bannyanjulira ng’omuko era ng’alidde enkoko zange eziwera namusanga ne mukyala wange nga banyumya.

Saabafaako, ne nneegatta ku mboozi. Mukyala wange yali atambulatambula nnyo ng’annimba nga bw’agendako mu bantu be naye nakizuula nti aba agenze kupepeya ne Kalema.

Kino tekyabamalira, omukyala yamala n’agenda n’omwana wange gye saamanya ne nsigala nga nneebuuza bingi.

Naye lumu waliwo omukazi eyajja n’angamba nga Namaganda bwe yamubbako omusajja we (Kalema) era n’awamba n’obufumbo bwe.

Yandagirira mukyala wange gye yeefumbiza era nagendayo ne mmusanga ng’ali mu dduuka ne Kalema. Enkeera, Namaganda yagenda mu nju yange n’atikka eby’omu nju byonna n’abitwala.

Bino byonna nabyesonyiwa kyokka ekintabula, ‘mukoddomi’ ankubira amasimu ng’atiisa nga bw’ajja okuntuusaako obulabe ssinga siva ku mukazi we.

Nabadde nkyalaajana lwa kunzibako kabiite wange, ate omukazi n’akantema nti n’omwana si wange! Kati nange navudde mu mbeera, njagala musajja munnange ajje asasule ebintu bye nasasula ewaabwe w’omukazi atwale mukaziwe n’omwana nange bandekere emirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...