TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Olwazaala omulenzi omusajja n’ansuulawo

Olwazaala omulenzi omusajja n’ansuulawo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2016

Abasinga baηηamba omwana mmusuule mu mwala, ku kasasiro, ku Ssanyu Babies Home abalala mbu mmutte.

Nusrah1 703x422

Nusrah ne mutabani we

NZE Nusrah Mbabazi. Omutuuze w’e Namasuba. Emyaka ena emabega twayagalana ne Jude Ssenkandwa era ebibala by’omukwano ogwo byali mwana mulenzi.

Nali mmanyi nti kirooto kya buli musajja okuzaala omwana era nti bw’omuzaalira omwana omulenzi akussa omukwano wabula ku Jude ate byansobera busobezi.

Katonda yatugerera ne tuzaala omwana wabula yali tayogera, talya, tayavula yadde okukola ebintu abaana abalala abali mu myaka gye bye batera okukola.

Omusajja olwansuulawo ne mbirekera Katonda olw’ensonga y’alina amaanyi ku buli kiri mu nsi eno. Nagezaako mu bapaasita ab’enjawulo ab’amannya wabula nga bonna baagala ssente ze sirina.

Mu kiseera kino sirina waakusula nga ne mu sitoowa gye mbadde nsula ew’omugenzi Zzimwe nayo bankooye baagala mbaviire.

Kati ntandise n’okwevuma ensi olw’ensonga nti n’abantu be ngezaako okwebuuzaako baηηamba bintu ebitategeerekeka.

Abasinga baηηamba omwana mmusuule mu mwala, ku kasasiro, ku Ssanyu Babies Home abalala mbu mmutte. Kati nsobeddwa eka ne mu kibira eky’okukola sikiraba kuba embeera yo erabika esusse ogw’obulamuzi.

Nsaba kuyambibwa kuba omwana ono mmututteko mu ddwaaliro bamujjanjabe naye nayo bansaba ssente nnyingi.

Alina obuyambi bwonna nsaba obuyise ku 0704922921.

Ayagala okuwa Mbabazi amagezi wandiika ekigambo magezi oweereze ku 8338 oba tuweereze ku facebook obawano  ku website ya Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono