TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ettamiiro lya baze lituuse okumunnemya

Ettamiiro lya baze lituuse okumunnemya

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2016

Buli kimu kibadde kitambula bulungi naye obutamiivu! Anywa n’adda ng’awunya okukamala kyokka nga sirina kyakulola ng’ate ndi lubuto.

Aboth 703x422

Aboth

TWAYAGALANIRA ebbanga ttono ddala n’omwami wange olw’okuba nnali sikyasoma era okukkakkana nga njingidde mu bufumbo, naye ndabidde ennaku mu bufumbo buno sigirojja.

Nze Regina Aboth, mbeera Katooke nnina emyaka 19. Nnali mbeera wa muganda wange e Matugga era saasoma kugenda wala olw’ebbula lya ffiizi.

Eno omusajja gye yansanga n’akwana n’anfunyisa olubuto mu bwangu. Ebigambo bye yaη ηamba nayanguwa okumukkiriza nga nneeyuna bufumbo.

Bwe nnamala okufuna olubuto, omusajja ono teyaddamu kunfaako ekyanyiiza mukulu wange okukkakkana ng’angobye n’andagira nnoonye nnannyini lubuto.

Yali yantegeezaaako ekyalo gy’ali era awo we nnatandikira okumunoonya. Era ekyansanyusa bwe nnamulaba teyangoba ne tutandika okubeera naye.

Buli kimu kibadde kitambula bulungi naye obutamiivu! Anywa n’adda ng’awunya okukamala kyokka nga sirina kyakulola ng’ate ndi lubuto.

Eky’okusiiba enjala mbadde nakimanyiira era nga bannange ku mulirwano be bannyamba ne bampa eky’okulya.

Kati nabo yabangobyeko nti mbeesonyiwe kyokka nga be bampa eky’okulya. Bannange bino binsobedde, nsaba abasomi mumpe ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono