TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetedde abakazi abalina ebirevu okweyongera

Ebireetedde abakazi abalina ebirevu okweyongera

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

Oluusi kiva ku butoffaali bw’omubiri nga butabusetabuseemu. Olumu kiva ku bintu bye tulya.

Birevu1 703x422

Omukazi ng’alaga obulevu.

DR. Robert Kajjubi ow’e Mulago agamba nti edda abawala n’abakyala abaameranga obulevu ng’obabalira ku ngalo. Wabula ensangi zino kizibu okulaba abakazi abataano nga tekuli alina kalevu.

Olw’okuba bwabanga bwa bbula, waliwo abaawanuuzanga nti singa okakuunyuulako nga tategedde, n’okatereka mu nsawo ng’olwo ojja kufa obugagga.

ENSONGA EZIMEZA ABAKAZI EBIREVU:

Dr. Kajjubi agamba nti omukazi okumera ebirevu kiva ku mpulirizo z’omubiri gwe obutakwatagana bulungi. Kino oluusi kiva ku kirungo kya ‘Androgen’ (nga kibeera mu basajja) okweyongera mu mubiri.

Oluusi kiva ku butoffaali bw’omubiri nga butabusetabuseemu.

Olumu kiva ku bintu bye tulya. Waliwo abakyala abalya ennyo ebisiike. Bino bisobola okuvaako omubiri okukola amasavu amangi ekivaamu kwe kumera ebirevu.

Edda abantu tebaalyanga nnyo bisiike ng’ennaku zino ekyo kiyinza okuba nga kye kivuddeko abakyala abalina ebirevu okweyongera. Olumu kiva mu kukozesa eddagala erigogola emisuwa. Lino lisinga kukozesebwa abaddusi.

Agattako nti obutuli omufulumira ebirevu bino bwe bufuna enkyukakyuka oba nga bukola nnyo nakyo kireetera ebirevu okumera.

Abakyala balina empulirizo ezimu ezifaanagana n’ezabasajja. Singa empulizo zino zeeyongera mu mubiri, kyangu omukazi okufuna ebirevu.

Singa ekirungo ekikola enviiri kiyitirira ne kigenda mu kifo we kitalina kulaga omukyala asobola okufuna ebirevu lwakuba byo biba bigonda kubanga ekirungo ekyo kiba kyagenda mu kifo we kitalina kulaga.

Y’ensonga lwaki omukazi bw’aba n’obulevu buba bugonvu nnyo okusinga enviiri. Olumu bitambulira mu musaayi.

Singa omukyala aba abirina kyangu okuzaala omwana nga naye abirina. Waliwo eddagala erimu erivaako omukyala okumera ebirevu nga lino omuntu bwalimira lyongera ekirungo kya ‘Adrogen’ mu musaayi naddala eryo abakola emifumbi lye bakozesa, eddagala eryongera ekirungo kya progesterone n’eddala.

Olumu enkyukakyuka ezibaawo ng’omukyala takyagenda mu nsonga, wamu n’okubeera olubuto kisobola okuvaako omukyala okufuna ebirevu. Waliwo ebireetebwa ebizigo bye beesiiga naddala nga birimu ekirungo kya ‘Adeogen.

Ate Dr. Anthony Komaroff owa Harvard Medical School agamba nti abakyala okumera ebirevu kiva ku buttoffaali obukola enviiri oba ebyoya okukyukakyuka. Singa omukyala abeera n’ekirungo kya androgens ekingi mu musaayi, asobola okutandika okumera ebirevu n’ebyoya mu bitundu ebirala byonna eby’omubiri.

Mu mbeera ezimu ekirungo kya ‘Androgen’ okweyongera kiva ku ddagala erimu abakyala lye bamira, okugeza empeke z’ekizaalaggumba, eddagala erivumula omutwe, erijjanjaba puleesa n’eddala. Oluusi ebirevu biva ku mugejjo.

Omukyala omunene aba n’emikisa mingi okumera ebirevu kuba obutoffaali bw’omubiri butaataagana. Wadde omukyala bw’amera ebirevu kiba kizibu okuddayo, waliwo by’oyinza okukola okubikendeeza, okugeza oyinza okubikuula mpolampola. Wadde bujja kukuluma naye bujja kulwawo okuddamu okumera.

Oyinza okukozesa ebizigo ebimwa enviiri ku mubiri n’obiggyako. Osobola okubisiigako ddaayi ne bifaanana ng’olususu lwo.

EBIWANUUZIBWA KU BAKAZI B’EBIREVU

Bingi ebiwanuuzibwa ku birevu by’abakyala. Ben Galiwango ow’e Makindye agamba nti yaganzaako omukazi alina ebirevu naye nga yali wanjawulo nnyo ku bakazi abalala, kuba yali anyumisa omukwano era ng’alimu ebirungo byonna ebisangibwa mu mukazi omutuufu.

Kojja Hussein Kajjubi ow’e Kawempe agattako nti omukazi alina ebirevu aba mufunyi, era omusajja bw’amuwasa n’amuteeka mu maka tebaddamu kudaaga mu nsonga z’essente kuba baba baamukisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...