TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi kwe bapimira bbeeyi y’abasajja

Abakazi kwe bapimira bbeeyi y’abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2016

ABAKAZI balina ebipimo eby'enjawulo bye bakozesa okumanya ekiti abasajja ababakwana kye bagwamu.

Folo 703x422

ABAKAZI balina ebipimo eby'enjawulo bye bakozesa okumanya ekiti abasajja ababakwana kye bagwamu.

Ekiseera ekitono kye bamala mu mbeera eno asobola okumanya oba omusajja alinawo ku nsimbi oba 'mpalenyweramuguwa'. Wammanga bye bimu ku biraga embeera y'omusajja.

Ebifo gy'aliira ssente

Waliwo ebifo ebimanyiddwa eby'ebbeeyi ng'omuntu okukibeeramu ateekwa okuba nga 'waleti' ye nzito.

Ebyokulya n’omwenge gwamu guba gwa bbeeyi. Mu mbeera eno omukazi bw'agwa ku musajja ow'ekika kino amanyirawo nti 'bbeeyinnene'.

Emirundi omusajja gy'acakala

Waliwo abasajja nga mu bifo ebisanyukirwamu bayitayo nga bateebye ku nsimbi oba ng'omwezi guweddeko nga bafunye omusaala olwo ne babula okutuusa omwezi omulala.

Naye waliwo abamu abatagwa kulya ssente nga ne mu nnaku z'okukola tebabulayo. Ow'ekika kino omukazi bw'amugwako amanya nti azitowa era tamuta.

Omusajja alamuza omwenge

Omusajja atuuka mu bbaala n'atandika okulamuza omwenge abakazi bamulabamu ebituli.

Omusajja ow'ebbeeyi asunda busunzi mwenge nga tafuddeeyo ku bbeeyi yaagwo ne bamuwa bbiiru oluvannyuma n'asasula ne yeggyawo.

Engeri gy'asundamu omwenge n'ebyokulya

Omusajja ensimbi gwe ziyitaba asunda omwenge n'ebyokulya ebirala ng'omuwendule.

Naye oyo atawera omwenge apima mupime. Ab'ekika kino tebalwa na mu bifo na bakazi olw'okutya okusasaanya ennyo.

Abasisinkana abakazi mu bifo bye batatundamu byakunywa

Waliwo abasajja abakola enteekateeka z'okusisinkana abakazi be bakwana mu bifo ebitaliimu kitundibwa kyonna nga mu bisaawe by'omupiira.

Ekigendererwa mu kino bwe butasaasaanya ssente ku mukazi. Omusajja ow'ekika kino abakazi bamulaba nga atalina ssente.

Ssente z'amusiibuza

Ssente omusajja z'asiibuza omukazi muganzi we zinsiira ku ngeri gy'abaliriramu.

Abasajja abamu bw'aba asiibula omukazi mu ngeri eno amuwa 10,000/-. Omukazi okukkiriza nti omusajja alina ku nsimbi ayagala ssente ezimusiibula zibe za sipensulo si boodabooda ezitasukka 5,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda