TOP

Yanzirikako nga tuli mu mukwano !

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2016

BANNANGE okumala gaganzaganza kya bulabe nnyo! Nze Simo Muwanguzi Bushwonder nga mbeera ku Mubaraka e Makindye.

Mala 703x422

BANNANGE okumala gaganzaganza kya bulabe nnyo! Nze Simo Muwanguzi Bushwonder nga mbeera ku Mubaraka e Makindye.

Natuuka nga ηηenda mu ndongo ku luguudo lw’e Salaama gye nafunira omuwala eyali asala ddansi mu ngeri ey’akabi.

Omukwano gwaffe gwanyuma era ne gugenda mu maaso ne tusala ekidongo okutuuka ku ssaawa 9:00 ez’ekiro era nga kw’olwo twagenda naye okukkakkana nga tuli waka.

Enkeera waalwo akawungeezi omuwala yaddayo ewaabwe era n’andagaanya nti ensonga zaffe zireme kukoma kw’olwo, namuwuliriza era ne mmukakasa nti sijja kumuyiwa.

Omukwano gwaffe gwagenda mu maaso era ng’abatulaba balowooza nti namuwasa kuba yali awaka tavaawo.

Waliwo olumu lwe nagenda okukola ne mmalayo ennaku nnya. Namuleka mu nnyumba nga talina kizibu kyonna wabula bwe nakomawo yafumba bulungi ekyeggulo ne tulya naye bwe twatuuka mu ssanyu ly’abafumbo nagenda okulaba ng’amaanyi gakendedde ne ndowooza nti tulo twe tumuli obubi.

Yali munafu nnyo era ηηenda okulaba nga takyayogera, assiza kumukumu, natya nnyo ate nga nali sirina bulungi ssente zimutwala mu ddwaaliro. Natagala mu nnyumba ne nfuluma ne nkubira ku mukwano gwange abeera e Jinja.

Ate naye yantiisa, bwe yagamba nti nnyinza okuddayo mu nju ng’afudde. Nakankana nga njogerera ku ssimu eno nga bwentya abayitawo okumpulira.

Oluvannyuma naguma ne nzirayo mu nju kyokka namusanga akutte ekikopo bwe naggulawo ne kigwa n’amazzi ge yali agenda okunywa ne gayiika.

Naddamu buto okutya nga ndowooza nti oba saali na muntu ne nziruka ! Naguma masajja ne nzirayo ate mu nju nagenda okutuuka ku luggi nga mpulira ampita ne nnyingira nga sirina mutima.

Wabula oluvannyuma yatereera. Ssinga omuwala ono yali anfuddeko, nandibitebezza ntya kuba nze nali sirina muntu we yenna gwe mmanyi kuba twali mu mukwano muyitirivu nga tetusuubirayo kizibu kyonna kutugwiira. Bwe namubuuza kye yali abadde, yannyonnyola nti obulwadde obwo bwamukwata okuva mu

buto era bujja ne bumugwira era n’angumya nneme kutya nti talina buzibu bwonna. Kati bannange obuzibu we buli omuwala agamba nti anjagala nnyo era ayagala tufumbiriganwe naye nze mbitya kyokka nga nange nali mmusiimye olw’empisa ze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...