TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebiyinza okukusuuza obubonero ng'omulenzi akututteko 'awutu'

Ebiyinza okukusuuza obubonero ng'omulenzi akututteko 'awutu'

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2016

ABASAJJA b'ennaku zino basala nnyo abawala obubonero okusinziira ku nneeyisa yaabwe bwe baba bagenzeeko nabo 'awutu'. Engeri abawala gye bali abangi, omulenzi bw'amulabamu ebituli taddayo kumwesembereza.

Couplessmile2 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano

ABASAJJA b'ennaku zino basala nnyo abawala obubonero okusinziira ku nneeyisa yaabwe bwe baba bagenzeeko nabo 'awutu'. Engeri abawala gye bali abangi, omulenzi bw'amulabamu ebituli taddayo kumwesembereza.

Wammanga bye bimu ku bintu omuwala by'olina okwewala ng’omulenzi akukwana akututteko awutu:

Abantu b'omanyi tobeemanyiiza

Mu kifo kino ne bw'osangayo omuntu gw'omannyi naddala omusajja weefuule atamulabye. Okwewa abantu bano kikulabisa bulala mu maaso g'omusajja akutaddemu ssente. Abasajja balina nnyo ebbuba.

Kuuma amateeka g'okulya

Olina okuteeka mu nkola amateeka agafuga okulya. Teweesokoola mu mannyo, tolya ng'oyogera, toswankula, saba mmere gy'omalawo era weebaze munno ekijjulo.

Weewale okuwa essimu obudde obungi

Abawala abalina amasimu naddala ago ag'omulembe guno gabamalira nnyo obudde. Mu kiseera kino ng'oli ne munno weewale okumalira obudde ku ssimu ng'oyogera n'abantu abalala wamu n'okigitigiinya. Bwe kiba kisoboka giggyeeko osobole okuwa munno obudde obumala.

Tomukanda ssente

Abawala b'ennaku zino abasinga obungi buli lwe bafuna omukisa okusisinkana abasajja mu ngeri eno batandikirawo okubasaba kalonda w'ebintu. Mu mbeera eno teweefuula munaku wa bbaluwa. Mwawukane nga tolina ky'omusabye era muleke akuyiiyize.

Weewale ebigambo ebingi

Abawala b’ennaku zino balasana nnyo. Kino kitegeeza butasirika n'otuuka obutawa munno mukisa kubaako ky'ayogera. Abasajja bangi tebaagala mukazi ayogera nga tasirika okufaananako eyamira 'tteepu'.

Teweefuula amanyi buli kimu

Mu mbeera eno weewale okulaga omusajja nti buli kimu okimanyi. Abayimbi, abasambi b'omupiira, abazannyi ba fi rimu, ebifo ebisanyukirwamu, abasajja abagagga, ennyimba eziri ku mulembe, ebifo ebisanyukirwamu n'ebintu ebirala eby'ekika kino.

Okupakuka okwawukana naye

Omusajja bw'akkiriza okukuteekamu ssente tomulaga nti oli mu bwangu obusukkiridde. Muwe obudde okutuusa ye lw'anaasalawo okukuta. Buli lw'omulaga waasiwaasi ayinza okulowooza nti opakuka lwa kwagalaa kusisinkana balenzi bo abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda