TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ku myaka 19 gye nnina eby’abasajja binkeese

Ku myaka 19 gye nnina eby’abasajja binkeese

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Mbadde mu bufumbo naye nga ndi musiiwuufu nnyo. Namusaba ssente ngende mu saaluni nnongoose enviiri, yakimmalako bwe yankwanga 2,000/-!

Nze Ruth Nabaasa, nga nzaalibwa Kamwenge. Nafuna omusajja ne tutandika okubeera ffembi. Mu biseera ebyo nali sisoma nga bazadde bange tebalina busobozi.

Nakoma mu P7. Maama yanzikiriza okugenda mu maaso n’obufumbo kuba ono omuvubuka yali amumanyi. Nnina emyaka 19 naye nawalirizibwa okufumbirwa nga nnina emyaka 17 olw’embeera embi gye nalimu.

Twava mu kyalo n’omulenzi wange tusobole okupakasa mu kibuga. Baze yafuna omulimu naye nga gwa safaali mu bizinga e Kalangala.

Nalaba ennaku kuba yandekawo okumala emyezi ebiri naye nga tansindikira buyambi. Oluvannyuma lw’omwezi gumu yakomawoko naye teyambuulira nsonga yamugaana kunsindikira buyambi.

Nafunanga abantu abandekera abaana baabwe ne nfuna ekyokulya. Bano bansasulanga 2,000/- olunaku. Wano mukwano gwange we yanfunira omulimu gw’okusiika cipusi ku kkubo e Bwaise. Baze bwe yakomawo yangamba nti omulimu gwa cipusi tagwagala.

Yalaba nnemeddeko, kwe kuntwala ewaabwe e Mityana okuyambako bazadde be ku mirimu gy’awaka n’okulima okumala ebbanga naye ssente zonna ezaavangamu, nga bazadde be be bazikozesa.

Byansobera ne nkomawo e Kampala tubeere ffembi, kyokka era yangaana okukola nti asobola okundabirira. Lumu namusaba asindikire mmange ssente mu kyalo kuba yali mulwadde. Yanziramu nti, ‘nnyoko mmusindikira ssente ankoledde ki?”

Kino kyannyiga naye nga sirina kyakukola.

Mbadde mu bufumbo naye nga ndi musiiwuufu nnyo. Namusaba ssente ngende mu saaluni nnongoose enviiri, yakimmalako bwe yankwanga 2,000/-!

Nagenda ewa mukwano gwange asiba enviiri n’annyamba n’ansiba wiivu kyokka omusajja olwakomawo yandagira mbisaleko! Kati nsiiba njala.

Mmwegayiridde ampe ssente 50,000/- nzireyo ewaffe agaanyi. Andaga nti yankoowa era ankuba emiggo buli lunaku, mpulira bintamye era nsobeddwa!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

Rat2 220x290

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola...

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...

Rab 220x290

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe...

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe n'akosebwa mu bwongo