TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ku myaka 19 gye nnina eby’abasajja binkeese

Ku myaka 19 gye nnina eby’abasajja binkeese

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Nze Ruth Nabaasa, nga nzaalibwa Kamwenge. Nafuna omusajja ne tutandika okubeera ffembi. Mu biseera ebyo nali sisoma nga bazadde bange tebalina busobozi.

Malaba 703x422

Nze Ruth Nabaasa, nga nzaalibwa Kamwenge. Nafuna omusajja ne tutandika okubeera ffembi. Mu biseera ebyo nali sisoma nga bazadde bange tebalina busobozi.

Nakoma mu P7. Maama yanzikiriza okugenda mu maaso n’obufumbo kuba ono omuvubuka yali amumanyi. Nnina emyaka 19 naye nawalirizibwa okufumbirwa nga nnina emyaka 17 olw’embeera embi gye nalimu. Twava mu kyalo n’omulenzi wange tusobole okupakasa mu kibuga.

Baze yafuna omulimu naye nga gwa safaali mu bizinga e Kalangala. Nalaba ennaku kuba yandekawo okumala emyezi ebiri naye nga tansindikira buyambi.

Oluvannyuma lw’omwezi gumu yakomawoko naye teyambuulira nsonga yamugaana kunsindikira buyambi. Nafunanga abantu abandekera abaana baabwe ne nfuna ekyokulya.

Bano bansasulanga 2,000/- olunaku. Wano mukwano gwange we yanfunira omulimu gw’okusiika cipusi ku kkubo e Bwaise.

Baze bwe yakomawo yahhamba nti omulimu gwa cipusi tagwagala. Yalaba nnemeddeko, kwe kuntwala ewaabwe e Mityana okuyambako bazadde be ku mirimu gy’awaka n’okulima okumala ebbanga naye ssente zonna ezaavangamu, nga bazadde be be bazikozesa.

Byansobera ne nkomawo e Kampala tubeere ffembi, kyokka era yahhaana okukola nti asobola okundabirira. Lumu namusaba asindikire mmange ssente mu kyalo kuba yali mulwadde. Yanziramu nti, ‘nnyoko mmusindikira ssente ankoledde ki?” Kino kyannyiga naye nga sirina kyakukola.

Mbadde mu bufumbo naye nga ndi musiiwuufu nnyo. Namusaba ssente hhende mu saaluni nnongoose enviiri, yakimmalako bwe yankwanga 2,000/-!

Nagenda ewa mukwano gwange asiba enviiri n’annyamba n’ansiba wiivu kyokka omusajja olwakomawo yandagira mbisaleko! Kati nsiiba njala. Mmwegayiridde ampe ssente 50,000/- nzireyo ewaffe agaanyi.

Andaga nti yankoowa era ankuba emiggo buli lunaku, mpulira bintamye era nsobeddwa!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.