TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Njagala kufuna mulwadde munnange twebeesebeese

Njagala kufuna mulwadde munnange twebeesebeese

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

Obulamu bw’omu naddala ng’omuntu olina akawuka si bwangu. Bwe wabaayo omukyala nga naye alina akawuka nga mwetegefu okutambula nange mu nsonga z’omukwano era ng’ajja kusobola n’okunzaalirayo ku baana, nkubira.

Hatangi1 703x422

Hatangimbabazi

OBULAMU bw’omu ng’olina akawuka si bwangu. Nze Deo Hatangimbabazi, 45 mbeera Kaliiti mu Wakiso. Eno najjayo mu 1994 nga nava Kabale, Kigezi okupakasa.

Ebintu byatambula bulungi okutuusa mu 2006 obulwadde bwe saasooka kumanya bwe bwanzingako ne bunkuba ku ndiri.

Nnasooka ne nneegumya naye oluvannyuma embeera embi gye nnalimu, abantu bange banteeka mu mmotoka ne bantwala mu ddwaaliro ly’amagye e Bombo.

Bankebera mangu obulwadde bwa siriimu era ne bazuula nga mbulina. Abaserikale b’omubiri gwange baali 48 ekyalaga nti obulamu bwange bwali bugenda. Banteeka ku ccupa n’obujjanjabi bwa ‘septrine’ n’eddagala eddala okumala emyezi esatu.

Nnali mumalirivu nnyo mu kumira eddagala lino ekyalinnyisa abaserikale b’omubiri gwange. Oluvannyuma nnatandika ne ARVS. Okuva lwe nnamanya nga bwe nnina obulwadde siddiriranga mu kugoberera mateeka g’abasawo. Seeraliikirira bulwadde, seerabirangako kumira ddagala era nneegendereza nnyo obulamu bwange.

Nsobola bulungi okukola emirimu gyange egy’okuzimba n’okusereka amayumba. Mu kiseera kino abaserikale b’omubiri bali 430. Eno y’ensonga lwaki ntandise n’okulowooza ku ky’okuwasa omukazi bwe tufaanana mu mbeera eno.

Obulamu bw’omu naddala ng’omuntu olina akawuka si bwangu. Bwe wabaayo omukyala nga naye alina akawuka nga mwetegefu okutambula nange mu nsonga z’omukwano era ng’ajja kusobola n’okunzaalirayo ku baana, nkubira ku 0759918509.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...