TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eddagala abakazi lye ‘bajjanjabisa’ abasajja ne batalabankana

Eddagala abakazi lye ‘bajjanjabisa’ abasajja ne batalabankana

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

GODFREY Ssemakula ow’e Bweyogerere, abamulaba bagamba nti mukazi we yamuloga n’amulekamu kasala kkubo. Tebalimulaba nga yeegombye ku bijuujulu ebimuyitako nga bitiribiza obubina era oluva ku mulimu adda butereevu mu maka ge.

Katunda1 703x422

Omuyimbi Mackie Ndeku eyayimba ‘Ensi eno ya kacwano’ ne mukazi we Shirah Nambejja ng’amugabula akatunda mu maka gaabwe e Kireka. Obufumbo baakabumalamu emyaka 7. Ebikolwa ng’ebyo bisanyusa abasajja n’ayongera okwagala mukyala we, olwo ababalaba ne balowooza nti omusajja baamuloga.

GODFREY Ssemakula ow’e Bweyogerere, abamulaba bagamba nti mukazi we yamuloga n’amulekamu kasala kkubo.

Tebalimulaba nga yeegombye ku bijuujulu ebimuyitako nga bitiribiza obubina era oluva ku mulimu adda butereevu mu maka ge.

Emboozi ya mukyala we temuva ku mumwa ng’amuwaana mu kino ne mu kiri, olwo mikwano gye ne gyekuba obwama nga gimugeya nga musajjawattu lye baamuliisa bwe lyali ekka!

Ssemakula tali yekka. Emirundi mingi abantu bwe balaba omusajja anyweredde ku mukazi we mu bulungi ne mu bubi, banguwa okubityebeka nti omukazi alina omuganga gwe yagendako n’amuwa eddagala.

Margaret Ssempala omutuuze w’e Kalambi abuulirira abakyala abafumbo era nga musomesa mu Kisaakaate kya Nnaabagereka agamba nti waliwo ebintu abasajja bye banoonya mu bakazi, era bw’abimukolera tayinza kuwankawanka.

 

Nambejja ng’amwa omwami we ekyenyi. Gwe owuwo wakoma ddi okumuwembejja?

Era ne bw’aba muvubuka nga tannasalawo mukazi gw’awasa, bw’afuna omuwala abimukolera kizibu okumuleka.

1 Okumutegeera. Kino kye kirina okusookera ddala mu mukwano. Bw’omanya omusajja ky’ayagala ne ky’atayagala otandika okukola ebimusanyusa era ennyombo tezijja kubeera mu maka gammwe.

2 Okumulaga laavu. Buli musajja ayagala okumwagala n’okumuwembejja. Omusajja bw’omulaga nti omwagala mu bubi ne mu bulungi ne bw’agenda ebbali afuna enjawulo wakati wo n’abakyala abalala era ekiseera kituuka n’akomawo.

3 Okumweguya. Abasajja baatondebwa nga bali waggulu w’abakyala era baagala okubalaga nti omweguya. Buli lw’omulaga nti tomufaako era tomweguya atandika obutakussaako mutima.

4 Okusonyiwa. Omukyala olina okusonyiwa amangu omwagalwa wo bw’aba akusobezza era kino kimukuuma nga buli kiseera akulowoozaako, ne bw’aba alina ekikyamu kye yandyagadde okukola bw’ajjukira nti wamusonyiwa ogwasooka akyesonyiwa.

5 Obwerufu. Omukyala bw’aba omwerufu mu maaso ga bba, obufumbo bwe tebusobola kufa. Omukyala talina kukweka bba by’akola. Kino kikuuma essanyu mu bufumbo.

6 Obukozi. Buli musajja yandyagadde okuba n’omukyala alina ky’akola. Omukazi atetenkanya kizibu okudiba mu maaso ga bba. Omukyala bw’aba akola asabola okuyamba ku bba naddala ng’abuliddwa ssente.

7 Obutajjukiza musajja byayita. Okujjukiza omusajja ebyayita kyonoona amaka. Waliwo abakyala abayomba n’abaami baabwe n’amulangira ebyayita nga bwe baabasanga nga tebalina ke balina. Waliwo ababajuliza n’abasajja be baasooka okuganza nga bwe babasinga okutegeera. Bino byonna binyiiza omusajja n’agenda.

 

8 Okumufaako ennyo. Abasajja balinga baana bato. Olina okumufaako mu ngeri ey’enjawulo. Okugeza bw’akomawo okuva ku mulimu mukuliseeyo, mutikkule, omuwe n’ekyokunywa oba ekyokulya. Ate ku makya, mutegekere ekyenkya ekinaamukkusa aleme kugwirana ku mulimu gy’akola. Omukazi kitwale nti buvunaanyizibwa bwo okumuyonja omuli okumusala enjala, okumusalira n’ebirala.

9 Okwefaako nga ggwe omuntu. Omukyala omufumbo takaddiwa wabula ye yeekaddiya okusinziira ku ngeri gy’aba yeeyisaamu. Olina okwefaako olabike bulungi mu maaso g’omwami wo.

10 Okwewala okuyomba. Omumwa mubi nnyo gugoba abasajja mu maka era okuyomba kubasindiikiriza n’okufunayo abakyala ebbali. Abakyala kino abakimanyi beewala okuyomba okusobola okukuuma amaka gaabwe nga mulimu essanyu.

11 Okumuwa ekitiibwa. Buli musajja ayagala okumuwa ekitiibwa kuba kimwongera amaanyi bw’amanya nti tomuyisaamu maaso. Ekitiibwa kimuwa essanyu era kyongera okumuwuliza nti wa muwendo mu maaso go.

12 Okumukolerayo eky’enjawulo. Abakyala bayiiyiza abaami baabwe ebibasanyusa, okugeza okumugulirayo akalabo k’atasuubira ng’essaati, empale, pafyumu, engatto oba ekirala kyonna. Ebintu bino bisanyusa abasajja era ne bwabeera akuli wala abeera akulowoozaako.

13 Okuteeseganya n’omwami wo bye bimu ku bikuuma essanyu mu bufumbo. Mulina okuba nga mukkiriziganya era kino kikuumira omusajja mu ssanyu buli lw’aleeta ekirowooza ne mukkiriziganya bulungi.

14 Obugumiikiriza. Okugumiikiriza omwami mu nnaku nga ssente zimuweddeko ne mu bulwadde lye limu ku ‘ddogo’ abakyala lye bakola okusanyusa abaami baabwe.

15 Okusaba n’okukulembeza Katonda. Omukyala bw’aba mukkiriza bw’asanga obuzibu mu maka ge yeekwasa Katonda. Kino kimuyamba okukkakkana n’atataamuuka. Kino kikuuma amaka gaabwe nga gatebenkedde.

 

Rev. Emmanuel Lutaayo omusumba w’Obusumba bw’e Bbira agamba abasajja baagala okubategeera, okubawa ekitiibwa, okubagumiikiriza mu mbeera zonna ze babaamu.

Okugeza bw’aba atamiira, anywa sigala akaluubirizibwa okunaaba oba omuze omulala gwonna aba ayagala munne amugumiikirize okutuusa bw’anaakyusa, okusinga okumuvuma buli lukedde.

Ekirala baagala okubayonja, tebaagala mukazi yeetaba mu byabulogo n’okufuuwa emmindi n’okubeerawo buli w’aba akwagalidde.

Okwagala abeewaabwe nsonga nkulu ddala n’okubawa ekitiibwa. Noolwekyo, bwoba oli mu maka nga tegatebenkedde bulungi, sooka ogezeeko ensonga ezo osanga mwe muli ekikolo n’eddagala ebinaavumula obufumbo bwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi