TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebizibu ebiri mu kulonda abakazi ekkubo

Biibino ebizibu ebiri mu kulonda abakazi ekkubo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

ABASAJJA naddala abavubuka bangi banguyirwa nnyo okulonda abawala ekkubo. Bano babaggya mu bifo ebisanyukirwamu nga mu bbaala, ku mbalama z’ennyanja, mu bivvulu n’ebirala. Mu mbeera eno bangi basibira mu bufumbo.

Bigstockunhappycouplelyingonbedno693324071024682 703x422

ABASAJJA naddala abavubuka bangi banguyirwa nnyo okulonda abawala ekkubo. Bano babaggya mu bifo ebisanyukirwamu nga mu bbaala, ku mbalama z’ennyanja, mu bivvulu n’ebirala. Mu mbeera eno bangi basibira mu bufumbo.

Wammanga bye bizibu ebiri mu kulonda ekkubo.

Obutemu;

Abasajja bangi abattiddwa abakazi mu ngeri eno. Omukazi bw’asanga omusajja n’eby’obugagga, engeri ennyangu gy’ayinza okubimufunako kwe kumutta. Bakozesa obutwa n’ebissi ebirala okutuukirizaamu kino. Olumala okutta ng’ayiiya engeri gy’abulawo n’ebintu bye.

Obubbi;

Abawala ba leero abasinga obungi ekigendererwa kyabwe si kya mukwano wabula byanfuna.

Bw’atuuka ew’omusajja atandikirawo okuyiiya engeri gy’ayinza okufuna ku bintu bye eby’omu nju n’essente enkalu.

Mu ngeri eno bw’afuna omukisa gwonna ogugabana ku bintu bino tayinza kusuula kabonero. Agera omusajja atambuddemu ng’afuna mmotoka, ogenda okudda osanga nju nkalu.

Kyangu okukusiiga obulwadde;

Omukazi bw’omala okumutuusa mu nju kyangu okugaana okukozesa obupiira mu nsonga z’omukwano. Mu kino ky’aba ayagala kwe kukufunamu olubuto akuliireko ssente. Mu ngeri endala kyangu okukuwereba obulwadde bw’ekikaba omuli ne siriimu mu bugenderevu.

Ayinza okwekobaana n’abantu ne bakulyamu ensimbi;

Omukazi ow’engeri eno kyangu okwefuula omufumbo, omuyizi w’essomero oba omuntu omulala abantu abalala gwe balinako obuvunaanyizibwa. Mu ngeri eno ayinza okwekobaana n’abantu era gye biggweera nga bakuliddemu ssente empitirivu.

Oyinza okugwa ku wooluganda lwo;

Engeri gye watabaawo budde bunoonyereza ku muwala gw’ofunye mu mbeera eno, kyangu okugwa kw’oyo gw’olinako akakwate. Oyinza okwesanga ng’omuntu ono omuzaddemu ekiyinza okukumalako essanyu.

Ayinza okukulemerako;

Omuwala ow’ekika kino bw’atuuka ewuwo n’atasangayo mukazi mulala, ayinza okulemerawo n’ekigendererwa ky’okwenfunza amakaago. Ssinga kino akituukiriza kiba kitegeeza nti oba otuuse okuwasa omukazi gw’otayagala. Noolwekyo mwegendereze nga munoonya ababeezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA