TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ekyama abavubuka kye bazudde mu bakazi abakulu

Ekyama abavubuka kye bazudde mu bakazi abakulu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

MUNDEKE ndye kikongoliro wadde kyaggwaako kasooli bwe ndikuuka amannyo mulindekayo e Mulago....’ bw’atyo Fred Nkambwe bwe yayimba ng’awaana laavu y’abakazi abakulu.

Munya 703x422

Guvnor Ace bwe yali yaakagattibwa n'Omuzungu we. Kyokka yamuddudako gye buvuddeko

MUNDEKE ndye kikongoliro wadde kyaggwaako kasooli bwe ndikuuka amannyo mulindekayo e Mulago....’ bw’atyo Fred Nkambwe bwe yayimba ng’awaana laavu y’abakazi abakulu.

N’abavubuka ennaku zino bettanidde okufumbirwa n’okuganza abakazi abakulu olw’ensonga zaabwe.

Omukugu mu kubuulirira abantu, Yasin Ssewankambo agamba nti; ‘Abavubuka ensonga nnyingi ezibaviiriddeko okufumbirwa abakazi abakadde era zino z’ezimu kwezo;

1 Obwavu obuyitiridde buwaliriza abavubuka okuddukira mu bakazi abakuze era abaakola edda. Bano babateeka mu bizinensi zaabwe, babagulira emmotoka ez’ebbeeyi n’okubawa ssente mu kkaasi. Bwe kituuka ku bano abaagala okweraga n’okulya esswaga mu bannaabwe, tebasibaamu.

2 Emyaka gibawaga ne gibalowoozesa nti bwe baganza abakazi abakulu baba baakitalo.

3 Abamu balabira ku mikwano gyabwe egyaganzaako ku bakazi abakulu era nga baabafunamu.

4 Abawala be baganza baagala nnyo ssente ng’ate abavubuka baba tebannaziweza. Kino kibasindika mu bakazi abakulu bafuneyo ssente ze banaawa abawala be baagala.

5 Abamu bakikola kukuuma mulimu. Kino kitera okubaawo ng’omukazi omukulu ye yawa omuvubuka omulimu olwo n’amutiisa okumugoba ssinga agaana okumuganza. Era waliyo n’abakazi abakozesa abavubuka bokka mu maduuka gaabwe naye ng’okubawa emirimu basooka kukkiriza kwegatta ne ‘bboosi.’

OBUZIBU OBUKIRIMU

  • Abavubuka bano oluusi bawunzika battiddwa. Abakazi abamu bw’alaba ng’omuvubuka gw’aganza ate aliko abalala b’azannya nabo matatu babatta. Abamu babakozesa nga ssaddaaka ne babawongayo, emirimu gyabwe gyongere okutambula obulungi mu masitaani gaabwe.
  • Mu buwangwa bwaffe, omusajja y’awasa era tekinyuma omukazi okuwasa omusajja. Kino kimalamu omulenzi ekitiibwa era n’omukazi awewuka kubanga alina kuwasibwa so si kuwasa!
  • Abavubuka okufumbirwa abakazi abakulu kibanafuya ne batasobola kukola mirimu givaamu ssente. Kino kizza eggwanga emabega kubanga abavubuka abalina amaanyi agakola ate badda mu kwenafuya.
  • Abavubuka batera okumaliriza nga tebawasizza bawala bagya mu myaka gyabwe era n’emikisa gyabwe egy’okuzaala giba mitono.
  • Kizibu obutakwatibwa ndwadde za kikaba nga siriimu, kandida, kabootongo, enziku, n’endala ze baggya mu bakazi abakulu kubanga ebiseera ebisinga baba balina abasajja abalala.

ABAWADDE AMAGEZI

Abavubuka mulina okwesigama ku ddiini zammwe nga mukola ebibayigirizibwa kuba tebisobola kubasuula mu nsobi ng’eyo. Mujjumbire okubudaabudibwa naddala abalina emitima egimene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...