TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyampangula amannyo yantamya obufumbo

Eyampangula amannyo yantamya obufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2016

BULI mukazi yandyagadde okufumbirwa naye ebizibu ebiri mu bufumbo bye bibutugobamu ne tweyombekera.

Manya 703x422

Irene Nazziwa

BULI mukazi yandyagadde okufumbirwa naye ebizibu ebiri mu bufumbo bye bibutugobamu ne tweyombekera.

NZE Irene Nazziwa, mbeera Kagoma. Nnina emyaka 39. Nakyawa obufumbo olwa baze okunfuula akagoma ng’ankuba buli kiseera.

Omusajja ono mbadde mmaze naye emyaka mukaaga naye nga simulinaamu mwana. Ebbanga lye namala naye nali nfaananako omuntu atudde ku maggwa olw’engeri gye yali ampisaamu. Buli lwe yaddanga awaka ng’abaako kye yeesonsa n’ankuba emiggo.

Teyandaga muze gwa bwenzi naye engeri gye yanfuula akagoma nawulira nga mmukooye n’obufumbo ne buntama.

Okumanya kyansukkako, olumu nga bw’akomawo ne tusinda omukwano ng’era oluusi yeesonsa n’ankuba nga yaakamala okwesanyusa ng’agamba nti alina engeri gy’ampulidde nti nayenze!

Natuuka ekiseera ne mpulira nga n’ebyokwegatta mbikooye anti omutima gwabeeranga guntundugga nti osanga bwe tunaamala ng’ankuba.

Okukuba kwe nakwo kwali mu kkiraasi yaakwo kubanga yampaccanga empi, okunkuba ensambaggere n’okunkubisa waya y’amasannyalaze.

Olunaku lwe yankuba n’anzigyamu amannyo lwakya ng’endala kyokka bwe yakomawo ng’anyweddeko kwe kutandika okuyomba.

Ku luno teyaggyayo waya y’amasannyalaze nga bulijjo wabula yankuba kikonde ku mumwa n’ampamgulamu amannyo abiri aga wakati era omusaayi ogwayiika gwantiisa nnyo ne ndowooza nti bwe siimuviire atuuse okunzitira mu nnyumba.

Nasooka kwesitula ne mmuloopa mu bazadde be kyokka bwe baamubuuza ekyali kinkubya yabalimba nti ndi mwenzi.

Olukiiko naluvaamu sifunyeemu bibala ate ne bwe twadda awaka nalinga aluggulidde ku ppata anti bwe twatuuka awaka ate n’ankuba buto ng’ambuuza ekyantutte mu bakadde be okumuloopa.

Yankuba nnyo ng’eno bw’ankutte mu bulago ng’alinga ayagala okuntuga. Nasibira ku poliisi y’e Kawempe gye namuloopa ne ntwala n’ebizibiti bya waya gye yankubisanga. Poliisi yamuyigga ne bamuteeka mu kaduukulu.

Nagenda okulaba nga siisobole musajja, kwe kumuviira ne hhenda ewa mukwano gwange eyambudamya.

Nayanguyirwa okumuviira kubanga nali simuzaalidde mwana. Saddamu na kulondoola oba yavaayo mu kaduukulu nga mpulira ankeese era eby’abasajja nkyabyesonyiye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu