TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja atakkuta kaboozi amalako omukazi akanyiriro

Omusajja atakkuta kaboozi amalako omukazi akanyiriro

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2016

OBADDE okimanyi nti n‛abasajja abamu batuuka mu mbeera y‛akasagazi? Nga buli kiseera alowooza kya kwetiiya mu kaboozi.

Kukuta1 703x422

OBADDE okimanyi nti n‛abasajja abamu batuuka mu mbeera y‛akasagazi? Nga buli kiseera alowooza kya kwetiiya mu kaboozi.

Naye ate akasagazi kano kaawukana ku bbuba. Kubanga ye omusajja ow‛akasagazi bw‛amala okwegatta n‛omukazi tafaaayo omukazi by‛akoze n‛abasajja abalala. Tafaayo oba omukazi alina omusajja omulala oba nedda.

Ye abeera afa kimu kumala kizibu kye ekiba kimutembye essaawa eyo. Sso ng‛omusajja ow‛ebbuba afaayo okukugira omukazi obutalingizaako wa basajja balala.

Naye ye ow‛akasagazi ebyo tabiriiko. Be basajja abatuuka n‛okupanga ne bakyala baabwe ne babafunira abasajja abalala basobole okufuna ssente. Ne bw‛amanya nti omukazi we yeebase n‛omusajja omulala, talumwa nnyo.

Be basajja b‛olaba nga bamanyi bakyala baabwe abasajja ababendako naye nga tebakitwala nga ensonga. Omukazi ne bw‛aba omulwadde; kazibe nsonga, era nga ye omusajja afi irawo nga tebanyumizza kaboozi.

Ow‛ekika kino akaboozi kamulemya n‛okukola, n‛atoloka ku mulimu asobole okudda awaka ayingire obuliri. Abeera ng‛aliko ekizimu nga bwe kimutikka tatereera. Abasajja ab‛ekika kino tebanyirira.

Buli kaseera babeera balunkulubuse kubanga emitima gyabwe giba giwankawanka. Naye nno buno bulinga bulwadde.

Kubanga omukazi alina omusajja ow‛ekika kino aggwaako ennyama yenna n‛akogga n‛aggwaawo. Kubanga buli omusajja lw‛adda awaka, mukazi wattu ne gumutujja.

Embeera eno oluusi eva ku myaka. Ng‛omusajja akyali mu myaka mimpi. Naye bw‛olaba nga ogwa mu kiti kino, kirungi oyogereko ne jjajja wo omusabe eddagala kubanga obwo bulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...