TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ekyama abavubuka kye bazudde mu bakazi abakulu

Ekyama abavubuka kye bazudde mu bakazi abakulu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2016

Abavubuka ennaku zino bettanidde okufumbirwa n’okuganza abakazi abakulu olw’ensonga zaabwe.

Ddubi1 703x422

Abavubuka nga bakuba eddubi.

  ‘MUNDEKE ndye kikongoliro wadde kyaggwaako kasooli bwe ndikuuka amannyo mulindekayo e Mulago....’ bw’atyo Fred Nkambwe bwe yayimba ng’awaana laavu y’abakazi abakulu.

 N’abavubuka ennaku zino bettanidde okufumbirwa n’okuganza abakazi abakulu olw’ensonga zaabwe.  Omukugu mu kubuulirira abantu, Yasin Ssewankambo agamba nti; ‘Abavubuka ensonga nnyingi ezibaviiriddeko okufumbirwa abakazi abakadde era zino z’ezimu kwezo;  

1 Obwavu obuyitiridde buwaliriza abavubuka okuddukira mu bakazi abakuze era abaakola edda. Bano babateeka mu bizinensi zaabwe, babagulira emmotoka ez’ebbeeyi n’okubawa ssente mu kkaasi. Bwe kituuka ku bano abaagala okweraga n’okulya esswaga mu bannaabwe, tebasibaamu.  

2 Emyaka gibawaga ne gibalowoozesa nti bwe baganza abakazi abakulu baba baakitalo.  

3 Abamu balabira ku mikwano gyabwe egyaganzaako ku bakazi abakulu era nga baabafunamu.  

4 Abawala be baganza baagala nnyo ssente ng’ate abavubuka baba tebannaziweza. Kino kibasindika mu bakazi abakulu bafuneyo ssente ze banaawa abawala be baagala.  

5 Abamu bakikola kukuuma mulimu. Kino kitera okubaawo ng’omukazi omukulu ye yawa omuvubuka omulimu olwo n’amutiisa okumugoba ssinga agaana okumuganza. Era waliyo n’abakazi abakozesa abavubuka bokka mu maduuka gaabwe naye ng’okubawa emirimu basooka kukkiriza kwegatta ne ‘bboosi.’  

 

OBUZIBU OBUKIRIMU  

  1. Abavubuka bano oluusi  bawunzika battiddwa. Abakazi abamu bw’alaba ng’omuvubuka gw’aganza ate aliko abalala b’azannya nabo matatu babatta. Abamu babakozesa nga ssaddaaka ne babawongayo, emirimu gyabwe gyongere okutambula obulungi mu masitaani gaabwe.  
  2. Mu buwangwa bwaffe, omusajja y’awasa era tekinyuma omukazi okuwasa omusajja. Kino kimalamu omulenzi ekitiibwa era n’omukazi awewuka kubanga alina kuwasibwa so si kuwasa!  
  3. Abavubuka okufumbirwa abakazi abakulu kibanafuya ne batasobola kukola mirimu givaamu ssente. Kino kizza eggwanga emabega kubanga abavubuka abalina amaanyi agakola ate badda mu kwenafuya. 
  4. Abavubuka batera okumaliriza nga tebawasizza bawala bagya mu myaka gyabwe era n’emikisa gyabwe egy’okuzaala giba mitono.  
  5. Kizibu obutakwatibwa ndwadde za kikaba nga siriimu, kandida, kabootongo, enziku, n’endala ze baggya mu bakazi abakulu kubanga ebiseera ebisinga baba balina abasajja abalala.  

ABAWADDE AMAGEZI  

Abavubuka mulina okwesigama ku ddiini zammwe nga mukola ebibayigirizibwa kuba tebisobola kubasuula mu nsobi ng’eyo.  

Mujjumbire okubudaabudibwa naddala abalina emitima egimenyese.

Okugeza; mweyune ebibiina by’oku matendekero ebibazzaamu essuubi ate n’abazadde bammwe mubeebuuzeeko.  Mukole nnyo kubanga ebirungi byonna byeyuna abo abanyiikira okukola.

Mujjumbire n’ebibiina by’abavubuka ebikola emirimu gy’emikono muleme kugwa mu bikemo bya ssente.  

Mwettanire emisomo egirimu okuyigirizibwa ebikwata ku byobulamu, empisa z’omu bantu.  

Muve mu kukeera okuzannya matatu ne ludo, munoonye emirimu egivaamu ssente.  

Mube bagumiikiriza n’okumatira akatono ke mu¬lina kuba teri afuna kirungi nga teyeerekerezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Owoyesigire 220x290

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda