TOP

Yansiba olubuto lwa myezi 2

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2016

KIRUNGI okusooka okwekenneenya omuwala gw’oyagala okuba naye mu bufumbo. Kyalibadde kirungi ne musooka okwekebeza omusaayi, endwadde z’ekikaba n’ebirala, kuba nze ekyantuukako na kati nkirojja.

Pika 703x422

KIRUNGI okusooka okwekenneenya omuwala gw’oyagala okuba naye mu bufumbo. Kyalibadde kirungi ne musooka okwekebeza omusaayi, endwadde z’ekikaba n’ebirala, kuba nze ekyantuukako na kati nkirojja.

Nze Josua Rasfi re Wagaba. Mbeera Makindye. Mu 2013 nali nkola okusobola okweyimirizaawo ng’omuvubuka.

Mu mwaka ogwo, twafi irwa ku muliraano era nga twalina okubawerekerako gye baziika e Mbiriizi Masaka.

Mu mmotoka ya kosita mwe twagendera, mwalimu eggwala ery’omusitukwa nga lirina entumbwe eryandya omwoyo.

Omutima gwange gwatendewalirwa bwentyo ne ntandika okulisokaasoka obugambo nga bwe tugenda.

Bwe twatuuka we batundira omucomo ne sooda, nalina okubimugulira. Twatuuka we bagenda okuziika era ne tumaliriza ekyatututte, olwo ne tutandika olugendo okudda e Kampala. Namusaba ennamba ye ey’essimu n’agimpa nange ne muwa eyange.

Enkeera namukubira ajje andabeko era naye teyasibamu n’ebyaddirira nammwe muli bakulu muyinza okubitegeera.

Twagenda mu maaso n’okweyagala nga kumpi ayosa olunaku lumu oba bbiri najja okundaba.

Nga wayiseewo emyezi ebiri, mwana muwala yankubira essimu n’antegeeza nga bw’alina olubuto.

Yansaba ssente asobole okugenda mu ddwaaliro era bwe yatuukayo yagamba nti baamusaba emitwalo 25 ne nzimuwa.

Yagenda mu maaso n’angamba nti omwana yali tateredde munda era nga kyali kimwetaagisa okugendako mu kattivvi nga kimwetaagisa mitwalo 35 era nazo nazimuwa ng’omukwano gunzibye amaaso, mikwano gyange ne giηηamba nti omukazi akufera naye nga nze sibiwulira kuba nnali manyi tannimba.

Okumanya abawala abayaaye babeera bakkakkamu , era yansomera pulaani endala nti nga bwali olubuto, kyalibadde kirungi ne mukolera bizinensi endala, tuleme okubonaabona ng’azadde nange ne nkitegeera nti ensonga ye erimu eggumba.

Nga wayiseewo emyezi esatu ng’amaze okuzaala, yeerabira essimu ye awaka, naye bwe nagitinkuula mwalimu obubaka obuwandiike nga bugamba, “omusajja yategeera nti omwana si wuwe?, Obulala nga bugamba nti “Kirabo omuleeta ddi tumuwe erinnya ettuufu?” Nawuniikirira amagezi ne ganzigwako.

Namubuuza enkeera nti ani nnannyini Kirabo omutuufu teyanziramu wabula oluvannyuma ne yeekaza nti gwe olabye eriyo agamba nti wuwe?

Ebiseera bwe byagenda byeyongera mu maaso, edduuka lyagenda lisereba mpola, mpozzi nga ssente aziggyamu azitereka nga yeetegekera kunoba era naalirya n’alisuulira ddala.

Yalaba sikyamufaako, yagera ηηenze okukola n’asibamu ebyanguwa era n’awandiika akabaluwa nakassa ku mmeeza nti, “ Tukuviiridde weegazaanye omwana kamutwale ewa kitaawe”.

Okuva olwo nakitegeera nti abakazi busa bwa mbogo bukala ku ngulu bw’obulinnyako bubeera bubisi munda.

Nalwawo okuguma kuba nnali manyidde okubeera naye naye nga sirina kyakukola. Wabula nakimanya nti okumala gaganza si kituufu era nange nalugwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...