TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yantega akamasu ka kumpoowa n’anziba

Yantega akamasu ka kumpoowa n’anziba

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2016

OMUSAJJA bwe yamala okumpoowa yambuzaabuza n’abba ssente zange! Yanzibako obukadde kkumi n’andeka e Juba ng’amaze n’okunfunyisa olubuto.

Yimba1 703x422

OMUSAJJA bwe yamala okumpoowa yambuzaabuza n’abba ssente zange! Yanzibako obukadde kkumi n’andeka e Juba ng’amaze n’okunfunyisa olubuto.

Nze Aisha Nakiyanja, mbeera Bulenga. Nnina ennaku ku mutima kubanga nabonaabona okumala emyaka ebiri nga nnoonya ssente e Juba ekya Sudan.

Nayita mu bugubi ne nkuηηaanya ssente zange obukadde kkumi era ne nfuna essanyu eritagambika.

Wakati mu ssanyu, omusajja gwe nali mpadde omutima gwange yazintwalako nga siguzeeko wadde akatambaala ak’omu ngalo.

Omusajja gwe njogerako ye Musa. Yankwana nga nnaakatuuka e Juba mu 2013. Laavu yaffe yagendera ddala wala n’atuuka n’okunsaba batuwoowe era ekyo kyakolebwa ne nfuuka mukyala we mu mateeka.

Olw’okuba twalina omukwano mungi, bwe nakolanga ssente nga nziteresa musajja wange olw’obubbi obungi obuli e Juba.

E Juba nakola emirimu egiwera omwali ogwa saluuni, okuyonja n’okukamula obutunda. Ssente ze yanzibako naziggya mu mirimu egyo.

Okumanya nali mmwagala, olumu yajjanga n’ankaabira obwavu ne mmuwa ssente agire ng’alyako.

Olwali olwo ng’antuuza bulungi ng’antegeeza nti kye kiseera tuve e Juba tudde ku butaka tusobole okubaako kye twekolera nga tuli ewaffe.

Yammatiza nti alina poloti e Uganda n’aηηamba nti ayagala bwe tuddayo, tuzimbemu ennyumba.

Yayongera n’antegeeza nga bwe tugenda okukola bizinensi ennene naffe tugaggawale. Byonna bye yannyinyonnyola byammatiza ne mmukwasa obukadde kkumi bwe nali nkuηηaanyizza ne nneewaayo tukole ffembi.

Nga mmuwadde ssente, yandeka e Juba n’akomawo, nze ne mmugoberera oluvannyuma. Bwe natuuka mu Uganda namukubira amasimu nga takwata ne nsoberwa.

Bwe nalemerako n’agikwata ne tukkaanya okusisinkana. Namubuuza ennyumba yaffe gy’azimba nga by’anziramu tebikwatagana.

Okubuuza ku bizinensi nga nayo teriiwo! Nagenda okuwulira mu ηηambo nga biyitiηηana nti apanga kubuuka kugenda Dubai.

Naddukira ku poliisi ne nneekubira enduulu. Naggulawo omusango ku fayiro SD 37/17/08/2016 ne bamukwata n’aggalirwa.

Ekisinga okunnuma, ssente zange ze nabonaabonera bwentyo saaziryako. N’okuddira omukwano gwange ne nguwa omufere nkyejjusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...