TOP

Omusajja yatunda ennyumba yaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2016

Omusajja yatunda ennyumba yaffe

Wu1 703x422

Nagujja

OMUSAJJA yatunda amaka ge twazimba ffembi n’andeka mu bbanga. Nze Florence Nagujja. Mbeera ku kyalo Katubwe mu Wakiso.

Nafumbirwa omusajja omujaasi naye namusanga talina kintu kyonna ne nguma ne mbeera naye okutuusa bwe nayiiya ne ntandika okukola ogw’obuwooza n’okutunda mu bbaala.

Naye yali akola ku busente ne tugatta wamu kyokka ng’ezange ze zaali ennyingi ne tugula puloti ne tutandika okuzimba. Twagimaliriza ne tutandika okugisulamu. Twalina omukwano mungi n’omusajja ono era ne mmuzaalira omwana omu yekka omulenzi.

Ekiseera kyatuuka maama wange nalwala ne hhenda okumujjanjaba era namalayo omwaka mulamba naye nagenda okuwulira ng’ate yafuna omukazi omulala.

Mu kiseera kino maama wange yafa naye mbadde nteekateeka kudda mu maka gange wadde nga mulimu omukazi omulala ate ne nfuna amawulire nti omusajja amaka yagatunda era baamuwaako ssente ezisinga obungi.

Ennyumba yange mbadde nkimanyi nti omwana wange omulenzi gwe namuzaalira mw’agenda okubeera ng’akuze naye kati simanyi kyakola kubanga kati n’omusajja talabika era ne we ntandikira sirabawo. Omusajja ono simanyi waabwe okuggyako okumanya amannya ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.