TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe naleeta okummalako ekiwuubaalo annumye olugalo

Gwe naleeta okummalako ekiwuubaalo annumye olugalo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2016

NZE Ruth Tukamushabe 32. Mbeera Busega. Nafumbirwako ne nzaala abaana babiri wabula ne nnemwa okukwatagana n’omusajja ne mmuviira nga nkooye enneeyisa ye.

Twala 703x422

NZE Ruth Tukamushabe 32. Mbeera Busega. Nafumbirwako ne nzaala abaana babiri wabula ne nnemwa okukwatagana n’omusajja ne mmuviira nga nkooye enneeyisa ye.

Okumwesonyiwa obulungi nasalawo ne nsengukira ddala ne nva mu kyalo ne nzija e Kampala nga saagala annoonye era abaana nabamulekera kubanga baali bakuze ne mmanya nti bwe ndeka abaana ajja kuba talina nsonga yaakunnoonya.

Olwobulumi bwe nalina ku mutima ebya laavu nasalawo ne nsooka mbyesonyiwa.

Nakola ne ntereka ssente zange era bwe zaawera kwe kwekolera ebbaala era n’ekwatayo ng’enjogera y’ennaku zino.

Namala emyaka etaano nga ndi bw’omu wabula nga bw’omanyi obutonde ne butandika okummanja.

Nasalawo nti sigenda kufuna musajja antwala mu maka ge kwe kusalawo okwefunirayo omulenzi ambeesebeese.

Nali nneekoledde nga nfunyeewo ku ssente zange kubanga nakiraba nti okubeera n’omusajja nga yakukolerera akujooga nnyo. Nali simanyi nti ne bw’oba okoze ssente zo ez’ekikazi omusajja asobola okukujooga.

Omulenzi gwe naleeta mu maka okumbeesabeesa yanfuukira ekizibu! Yankubira emiggo mu maka gange nga kw’agasse n’okutwala ssente zange ku kifuba ne mpulira ennaku nga ndaba bye nadduka bye nzizeemu.

Namulagira asibemu ebibye anviire wabula yantegeeza nti sigeza ne mmugoba era n’alayira nti okuva mu maka gange n’obulamu nnondeko kimu. Natya nnyo ne ηηenda ku poliisi wabula saafuna kuyambibwa kumala kubanga bwe baamusiba yamalayo ennaku bbiri n’akomawo awaka.

Bwe yakomawo yatandikira mu ggiya n’ankuba bubi nnyo n’atuuka n’okunnuma olugalo era yabulako katono okuluggyako.

Ndayira obutaddamu kwesembereza basajja kubanga kirabika bonna abazaala y’omu. Nsaba poliisi ennyambe omulenzi ono ave mu maka gange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga