TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanzigya e Rwanda n’anzaalamu anneefuulidde

Eyanzigya e Rwanda n’anzaalamu anneefuulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2016

OMUSAJJA eyanzigya e Rwanda n’anzaalamu abaana mukaaga atusudde mu kazigo tetulina kyetulya. Nze Faswezih Wembabazi, 32, mbeera Ssembabule.

Ssente 703x422

Wembabazi n’abaana be omusajja be yamulekedde.

OMUSAJJA eyanzigya e Rwanda n’anzaalamu abaana mukaaga atusudde mu kazigo tetulina kyetulya. Nze Faswezih Wembabazi, 32, mbeera Ssembabule.

Omusajja ono namufuna mbeera wa jjajjange e Rwanda mu 2003 ne tutandika okwagalana.

Bwe yamala okunfunyisa olubuto n’anzirusa e Rwanda nandeeta mu Uganda ne tutandika obufumbo bwaffe nga tubeera Kibuye.

Mu kikomera mwe yanteeka mwalimu ne baganda be nga nabo mwe bapangisa era enkolagana yaffe yali nnungi mu ntandikwa.

Emyaka mwenda gye maze n’omusajja ono, anjooze mu buli kimu omubadde okwenda n’atuuka n’okugula bamalaaya ne yeegatta nabo mu nnyumba nga nange mwendi.

Lumu yandeka n’agenda e Rwanda nga tambuulidde wadde okundekera ekintu kyonna olwo ne tudda mu kusabiriza baganda be ez’emmere.

Naye nabo ng’olumu batugobaganya ate nga bwe baba batuwadde, batuwa 2,000/- nga kwe njiiyiza n’abaana mukaaga.

Bwe yakomawo e Rwanda yatandika okusula mu baganda be nga n’emmere gy’agirya olwo ffe ne tusiiba enjala.

Bwe namusabanga ssente z’emmere ng’agamba nti muwe abaana be nze noonye gye ndaga.

Ekintiisa nti ne famire yaabwe nzibu kuba ne bakulu be baagoba bakyala bwabwe be baasooka okuwasa ne babaggyako n’abaana era baggya baabwe be babalabirira. Kati yandese mu nju kyokka landiroodi angobaganya n’abaana bange.

Ekizibu sikola ate sirina waaluganda yenna mu Uganda asobola kunyamba.

Ayagala muwe abaana bange naye mpulira kinkaluubiridde kuba tasobola kubalabirira.

Nsaba omuzirakisa asobola okutuwa ssente nsasule we mbeera n’okulabirira abaana bange oba waakiri tuddeyo e Rwanda kubanga sisobola kubamulekera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...