TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Bboosi wa mukazi wange yankwata mu liiso

Bboosi wa mukazi wange yankwata mu liiso

By Musasi wa Bukedde

Added 26th October 2016

Nejjusa olunaku lwe nnakkiriza mukyala wange okukola, ssinga kati tuli bulungi mu mukwano gwaffe ogweyagaza.

Mega1cmyk 703x422

Nejjusa olunaku lwe nnakkiriza mukyala wange okukola, ssinga kati tuli bulungi mu mukwano gwaffe ogweyagaza.

Nze Robert Ahumuza, nnina emyaka 39, nga mbeera Maganjo wadde nga nava Rakai. E Kampala najja kukola ssente era eno gye nasanga nnakyala ono eyandya obwongo.

Namuwasa ne tuzaala n’abaana babiri era nga tuli mu mukwano ogweyagaza wadde nga tetwali bagagga. Lumu mukyala wange yansaba atandike okukola tusobole okukwataganyiza awamu obuvunaanyizibwa bw’awaka era ne mukkiriza nga sirabawo buzibu bwonna.

Wabula omukyala ono bwe yatandika okukola, yafuuka ekizibu era eby’okunzisaamu ekitiibwa awo we byakoma. Nga n’okufa ku baana takyayagala kumanya ng’agamba nti talina budde.

Yatandika okudda ekikeerezi  kyokka nga bwe mubuuza gy’abadde ng’anziramu nti, tokimanyi nti nkola? Olwo nga nange nsirika kuba omukyala ono nali mmwagala okukamala.

Nakubira bazadde be essimu ne mbannyonnyola obuzibu bwe nnina awaka era ne mbasaba batwale muwala waabwe bamubuulirire.

Bwe yagenda  okumubuulirira teyakomawo era bwe nagenda mu kyalo okubuuza namusanga ali lubuto.

Namubuuza nnannyini lwo n’antegeeza nti  lwa bboosi we nti naye bwe yakimanya nti ali lubuto n’amugaana okuddamu okumukubira essimu naye kwe kusalawo asigale mu kyalo.

Yansaba musonyiwe ne ngaana era ne muviira ne nkomawo e Kampala kati mwaka mulamba. Ebirala bisange mu Bukedde w’Olwokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...