TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mu kaboozi asooka okumalamu akagoba y’alya empanga

Mu kaboozi asooka okumalamu akagoba y’alya empanga

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2016

Kati mmwe abasajja abeepika nga munaabaako akaboozi ke munyumya, mwemaliramu bwereere.

Gabawo 703x422

BAKULIMBA kirala, bwe muba mu kaboozi, asooka okumalamu akagoba y‛alya empanga. Kubanga abeera amalidde mu bunyuvu era obusomyo bwonna bumubugaana.

Kati ggwe amala oluvannyuma, obeera ku puleesa naawe omale, ate ng‛okimanyi nti mu kaseera ako ne munno aba takyanyumirwa wabula atuusa mukolo naawe akusobozese okufuna ku ssanyu.

Kati mmwe abasajja abeepika nga munaabaako akaboozi ke munyumya, mwemaliramu bwereere.

Ebyo bye mukola mbu mulwewo okumala, kubanga mulowooza nti okuwangaalira mu kyeso kye kikulaga bw‛oli omusajja, bya ppa! Kubanga ekimatiza omukazi kumanya w‛omukwata namalamu akagoba.

So si ebyo bye mwepika mbu babatende. Abamu munywa kkaawa ajula okubatta obussi nga munaabaako bye mukola mu buliri. Mbu musobole okukakanyaza ebinywa okumala ebbanga eggwanvu.

Abalala mumeketa emirondo n‛abamu ne mutuuka okwekatankira waragi. Naye ebyo byonna bya bwereere.

Kye mulina okumanya kiri nti buli abakazi bano lwe babasooka okumala, babeera babakwakkuddeko essanyu lye mwandifunye.

Noolwekyo muteekwa okuyingiranga mu kikolwa eky‛okwegatta nga mufuba okulaba nti mumala mangu akagoba. Musobole okusaaba ku masavu g‛akaboozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...