TOP

Omusajja tammatiza nkole ntya?

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2016

MWANA wange abakyala bangi abalina ekizibu kino. Naye ng’obuzibu okusinga buva ku basajja abamu obutamanya mibiri gy’abakyala bwegikola.

Ssenga1 703x422

OMUSAJJA tammatiza. Nkole ntya?

MWANA wange abakyala bangi abalina ekizibu kino. Naye ng’obuzibu okusinga buva ku basajja abamu obutamanya mibiri gy’abakyala bwegikola.

Ate tobanenya nnyo, abasajja abamu balowooza nti omukyala y’alina okusanyusa omusajja era omukyala alina kwegatta bwegassi ng’omusajja ayagadde okwegatta naye.

Batono abamanyi nti omukyala naye alina okufuna essanyu mu kwegatta.

Edda abawala baafumbirwanga bato ddala nga mbeerera, era eby’okwegatta baabiyigiranga ku musajja oba ssenga naye kati abakyala bamanyi essanyu mu kwegatta era bamanyi nti omusajja alina okumatiza omukyala.

Kale mwana wange ky’olina okukola nsuubira nti olina ssenga gw’osobola okwogera naye ate ng’omusajja amwesiga bulungi.

Yogera ne ssengawo ayogere n’omusajja. Ekirala gwe kennyini oyinza okwogera n’omusajja ng’okozesa amagezi amazaale aleme kulowooza nti tomuwa kitiibwa.

Sooka omwebaze omugambe nti mwandyongedde mu mukwano gwammwe ebirungo omubuulire ky’oyagala.

Ekirala n’olupapula lwaffe oluganzi Bukedde luyigiriza bingi muwe asomeko. Oba nkubira essimu nkuwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...