TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakyala bawedde ebintu 10 byebaagala abaami bakyuse mu 2017

Abakyala bawedde ebintu 10 byebaagala abaami bakyuse mu 2017

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2017

Abakyala bawedde ebintu 10 byebaagala abaami bakyuse mu 2017

Nga1 703x422

Abakyala tebaagala kubanenya buli kiseera.

“SSINGA si baana bange nandibadde naviira dda omusajja ono ne ntandika obulamu obupya….Emyaka gyonna gye mmaze mu bufumbo sifunyemu ssanyu okuggyako okubeera mu mbirigo n’ekisajja…. Kale sisobola na kuddamu kukizaalira….,” Nabweteme bwe yalombojjedde banne ennaku gy’alimu olw’embeera za bba.

Okubulwa essanyu mu bufumbo ebiseera ebisinga tekiva ku mbeera za bulijjo ng’obwavu wabula ku nneeyisa y’omusajja omukazi gwe yafumbirwa. Waliwo embeera za mirundi 10 abakazi ze beekokkola nga bagamba nti zibamazeeko emirembe. Basaba babbaabwe bazikoleko mu 2017. Abataggwa kuloopera bannyaabwe buli ekiri awaka: Omusajja ataggwa kuloopera nnyina ebiri awaka abeera yalemwa okukula mu birowoozo.

Ono ye musajja atwala buli kintu ekimutuukako mu bulamu nga kinene nga tasobola kukyemalira ng’omusajja. Okugeza ssinga akeera ku makya n’anoonya sitokisi ne zimubula kiyinza okumukwasa essimu n’aloopera nnyina nga mukyala we bw’atakyamufaako. Afaayo nnyo eri nnyina okusinga mukyala we.

Okugeza asobola okumalako olunaku ng’ayogedde ne nnyina ku ssimu emirundi egisoba mu ebiri kyokka ng’okwogera ne mukyala we wamala kubeerawo mbeera eteebeereka gamba ng’okubaako kye yeetaaga okumukolera.

Ekisinga kumalako omukazi emirembe ye nnyazaala ate okumulumba ng’amunenya ku bintu mutabani by’azze amuloopera. Amina Nalubega agamba nti omusajja ateesalirawo anyiiza nnyo nga buli nsonga agitwala wa nnyina.

Agamba nti omusajja bwatyo akuleetera okulowooza nti takwagala kuba waliwo ensonga ze muyinza okukkaanyakooba okugonjoola ng’abafumbo obulamu ne bugenda mu maaso mu kifo ky’okuziteekamu abantu abalala oluusi abayinza n’okuziwanvuya. Abakyala balina obuvunaanyizibwa okulaba nga bakyusa abaami baabwe ebizibu ne mubyegonjoolera. Abasajja abafaayo ennyo eri abakazi abalala:

Abasajja ab’engeri eno balaga okwagala n’okufaayo okw’amaanyi eri abakazi abalala okusinga bakyala baabwe bennyini. Abamu babeera n’embeera y’okwegula mu bakazi abalala ne babakolera ebirungi bye batakolera bakyala baabwe. Bwe basanga abakazi abangu osanga batenguse emitima n’akkiddirira bubeera bwenzi.

Emikwano gye basinga okubeera nagyo gibeera gya bakazi era emboozi zaabwe nga bali ne bakyala baabwe banyumya nnyo ku bakyala abalala ekitera okubamalako emirembe. Omunyunyunsi; Omusajja bwati ayinza okuba ng’alina omulimu ogumusasula obulungi ate abalala nga talina mulimu mulungi.

Ebiseera ebisinga yeesamba obuvunaanyizibwa bwe ne kiwaliriza omukaziokukozesa ssente ze mu bintu ebisinga awaka ng’okulabirira abaana, okugula ebyetaago n’ebirala. Batera nnyo n’okwagala okwewola ku bakazi baabwe.

Ekyewuunyisa ku basajja ab’engeri eno batera okubeera nga bacakala nga bakozesa ssente nnyingi ne mikwano gyabwe naye nga bwe kituuka awaka beesuulirayo gwa nnaggamba. Abasajja abenzi ate ne balaga bakyala baabwe; Abakazi beeyongedde okukyawa abasajja abenzi abamu ne batuuka n’okubalaga nga bwe waliyo ababasinga. Ab’engeri eno bwe bafunamu obutakkaanya ne bakyala baabwe ab’awaka batera okugenda mu bakazi ab’ebbali olwo awaka n’aleeta tulo.

Abalala beefuula abatalina nsimbi nga wabaddewo kye babasabye okugula kuba ssente bazimalira mu bakazi abalala. Abasajja abamu batuuka n’okubalangira bwe waliwo abakira mu kubabudaabuda.

Ekimu ku bimalako omukazi ow’awaka emirembe y’embeera y’obutabeera na ssente nga buli lwe bazimusaba akaaba nga bwe zitaliiwo so ng’azimalira mu bakazi balala. Wabula Joseph Ddamulira owa Nana Counselling Services, ng’abuiulirira abafumbo n’abali mu mukwano agamba nti embeera eno ebeera ya bulabe mu maka.

Agamba nti abakazi abamu nabo batuuka ku mbeera y’okwesasuza nga nabo bafunayo abasajja abalala okubamalako ennaku. Ddamulira agamba nti ekibi y’embeera y’obwenzi okuyingira mu maka ekiyinza okuvaako abafumbo bano okufuna endwadde nga siriimu ez’ekikaba n’obusambattuko mu maka.

Abasuubiza buli kiseera ne batatuukiriza; Bano be basajja ababeera n’enteekateeka ez’amaanyi buli kiseera nga batambuliza omukazi mu ssuubi nti obulamu bugenda Biraze ku 15 Abafumbo bano baali beetegereza liisiti z’ebintu ebiguliddwa kyokka nga bafunyemu obutakkaanya ku ssente ezaakozesebwa.

Nalubegakutereera babeere mu bulungi kyokka ne bitatuukirira. Okugeza; omukazi ayinza okumusaba ssente okukola enviiri oba okugula olugoye wabula buli kiseera amusuubiza jjo jjuuzi okutuusa omukazi lw’azeesonyiwa n’abivaako. Ekirala bano tebatera kugaana ekibeera kibasabiddwa kyokka gye biggweera nga bayiye abaagalwa baabwe.

Abalemeramu empisa z’obuwuulu; Omusajja bw’aba yalemeramu embeera z’ekiwuulu, batera okumenya abakazi kuba omukyala talina lunaku lw’awulira ng’omufumbo. Abasajja ab’engeri eno tebatera kutambulako na bakyala baabwe.

Okufaananako omuwuulu talina lw’ayinza kuva waka n’ategeeza mukyala we w’alaze kubanga aba yamanyiira okutambula n’okudda nga tewali amubuuza ku ntambula ze. Abeewala oba abatya obuvunaanyizibwa Abasajja ekika kino babeera batya obuvunaanyizibwa era abamu bayinza okulekerera bakyala baabwe mu bugenderevu oba nga bafunye okusoomoozebwa kwonna.

 

Okugeza ssinga omukyala azaala abaana abasukka mu babiri, omwana aliko obulemu oba ne wajjawo ekyetaago nga kyetaagisa ssente nnyingi, abamu basuulawo bakazi baabwe ne babaddukako olwo omukazi n’atoba n’ekizibu ekyo.

Omucakaze; Abasajja abacakaze bamala obudde bungi ebweru okusinga mu maka gaabwe era asobola okumala ebbanga ng’abaana be tebamulabyeko olw’okubeera awaka ekitono ng’akomawo kikeerezi ate oluddako n’akeera nnyo. Bano era boonoona nnyo ssente mu bintu ebitaliimu ng’okuzigabira be bacakala nabo naddala abakazi olwo ab’awaka ne badda mu kuyagga.

Weesanga ng’omukazi atubidde mu mabanja olw’okwewola ssente agule ebiyimirizaawo amaka ng’omusajja tamuwa ssente.

Nnaakyemalira; Bano mu maka babeera tebaddibwamu ku kye basazeewo.

Omukyala abeera mu buddu obudde bwonna ng’alina kutambulira ku kya musajja ky’asazeewo.

Batera akulaga nti be basukkulumye nga mulimu n’abamanyi okwesenera enva okugeza ez’ennyama oba enkoko.

Ab’akasunguyira Bano babeera n’obusunga nga bakirako ennumba. N’ensonga entono bayinza okuva okwo ne bayomba kumpi na kwagala kukuba mukazi.

Embeera eno ekuumira nnyo abakazi ku bunkenke ne babulwa emirembe awakaTebakoma ku mukyala wabula n’abaana oba abakozi babayombya ssinga babeerako kye bakoze ne kitabasanyusa.

Babeera ba bulabe kubanga tebateesa era ensonga ezaabwe bazimalira mu kuyomba na kukubaa.

Tebeetonda ate tebaswala kumalira nsonga z’amaka mu lujjudde ekitegeeza obusungu we bumukwatidde asobola okukubirawo mukazi we ebikonde n’ensambaggere.

Obutakkaanya bwabwe babwemalira mu ngeri y’okubonereza bakyala baabwe ng’abaana be bazaala.

Abatamiivu n’abatayagala kunaaba; Abakyala bagamba nti ekimu ku bisinga okubamalako emirembe naddala nga bali mu kisenge be basajja abatayagala kunaaba n’abanywa ennyo omwenge ne sigala.

Bagamba nti bano babeera bawunya bubi ne babamalako emirembe ate bwe babagambako ne bayomba.

Abakazi bagamba nti omusajja omunywi wa sigala n’omwenge buli lw’atuuyana bisigaza ekisumu mu masuuka n’engoye z’ayambadde. Ate gujabagira ng’omukazi takomberako ddala ku bintu bino.

Ddamulira agamba nti ebimu ku biva mu mbeera be bakyala okusalawo okwawula obuliri ate abaami ne batabuka.

Abasajja bayinza okwekwasa ng’omukazi bw’amuzize ekivaamu kuyomba oba oluusi okulwana. Awa abasajja amagezi ababeera mu mbeera eno okwegerera nga banywa obutakaluubiriza bakyala baabwe.

Agamba nti omusajja ow’obuvunaanyizibwa ateekwa okunaaba n’atakaluubiriza mwagalwa we. Abakyala bagamba nti ssinga babbaabwe batereeza ensonga zino mu mwaka guno omuggya, obufumbo bwakubatambulira bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.