TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo abafumbo bwe balina okwekwata okunyumirwa 2017

Obukodyo abafumbo bwe balina okwekwata okunyumirwa 2017

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2017

Obukodyo abafumbo bwe balina okwekwata okunyumirwa 2017

Re1 703x422

ABAFUMBO mwenna gye muli mbayozaayoza okutuuka mu kiseera kino nga mukyakuumye endagaano.

Ate mmwe bawala bange musaanamu engalo ez‛omuyiika kuba muyita mu kusoomoozebwa kungi mu maka gammwe. Mu kiseera kino nga 2016 atuwuubira akatambaala era nga tutandise okulengera 2017, ng‛abafumbo kye kiseera okulowooza ku ngeri gye tugenda okutwala obufumbo bwaffe ku ddaala eddala.

Guno gwe mukisa gwe mulina okulowooza ku ngeri gye mugenda okumenya likodi mu laavu. Mulowooze ku bisoko bye mugenda okussa mu laavu ebawoomere okukira omubisi gw‛enjuki mu mwaka omupya.

Ebiseera ebisinga ekimala essanyu mu bufumbo be Obukodyo abafumbo bwe balina okwekwata okunyumirwa 2017 bafumbo obuteenyumiriza mu bannaabwe n‛okubalaba ng‛abantu abatabakwatako nnyo mu bulamu bwabwe.

Mu nkola ntuufu ggwe omufumbo kkiriza nti oyo gw‛olina ye wuwo era teriiyo mulala amusinga. Mu mbeera eno ebisigadde bijja kutambulira ku museetwe.

Ensobi abazitoowererwa obufumbo gye bakola kwe kweteekamu endowooza nga bwe baatomera ne batuuka n‛okwekubagiza.

Buli lw‛olemwa okwenyumiriza mu munno toyinza kunyumirwa bufumbo. Ate bw‛omala okukkiriza nti oyo gw‛olina kye kirabo ekyava eri Katonda mwanawattu ojja kunyumirwa obufumbo mwaka ku mwaka.

Mu mbeera eno ggwe alina munno akusula ku lusegere weesuneko. Ekyo ng‛okimaze muwanike mu bire ng‛omuwaana, omusuuta, n‛okubabikka laavu mu ngeri ey‛enjawulo olwo be kiruma beetugire ku munyaanya.

Abantu nga bw‛obamanyi bajja kusooka boogere kyokka bwe banaalaba ng‛omukwano gwammwe gugenda mu maaso nga bugolo bajja kubeesonyiwa.

Mwemanyiize okutambuliranga awamu, okutuula awamu ku mikolo egy‛enjawulo n‛okweyita amannya agooleka omukwano.

Buli lwe weefuula ow‛ekitiibwa n‛osalawo okweyisa ng‛omukungu mu bulamu omuli n‛obw‛ekisenge omukwano gujja kigwa olubege. Kye mulina okumanya kiri nti ng‛oyagala okunyumirwa omukwano munno mulabire mu kifaananyi kya mukwano gwo asinga bonna.

Mukwano gwo toyinza, butamuddaabiriza, butamubudaabuda, butamusonyiwa n‛embeera endala nnyingi.

Mmwe abaana ab‛obuwala nga muli eyo mu nsitaano zammwe ez‛ababiri mulage bannammwe nti we batali obulamu tebuyinza kugenda mu maaso.

Omuzannyo muguwereekereze akaluulu ak‛oluleekereeke wamma omukwano gunyume. Eno y‛engeri gye mujja okumenyamu likodi ya laavu mu 2017 n‛okweyongerayo. Akuume.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10