TOP

Omukazi amufumbidde emyaka 17 amuyise yaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 28th February 2017

Ntege ku poliisi e Kira bwe yabadde ayogera, yeegaanyi Nakyanzi n'agamba nti tabeerangako mukazi we, wabula yali yaaya gwe yaleeta okufumbira abazimbi emmere!

Ntege1 703x422

Ntege ne mukyala we nga gukyabasaza mu kabu

Bya MADINAH NALWANGA NE TONNY KAYEMBA  

SSEMAKA Mukasa Ntege ew'e Naalya, nga yinginiya w'amayumba omututumufu mu Munisipaali y'e Kira, anaabidde mukazi we Jane Nakyanzi mu maaso ku poliisi e Kira n'amuyita yaaya eyajja okufumbira abazimbi be emmere lwa butazaala.

Nakyanzi afumbye omwa Ntege kati emyaka 17 era nga yamwanjula ne mu bakadde be ewa Yosam Kakooza nga July 24, 2004 e Kiteesa mu ggombolola y'e Kaliro mu disitulikiti y'e Rakai.

Kyokka abadde tamusibanga mpeta kubanga alina omukazi gwe yasooka okuginaanika era nga tebaawukananga.

Baludde nga bagugulana nga Ntege agoba Nakyanzi awaka okuva mu mwaka gwa 2011.

ENGERI GYE BAASISINKANA

Nakyanzi agamba nti Ntege yamukwanira Ggaba gye yali abeera ewa kitaawe omuto Mbogo mu 2000.

"Twasooka ne tukukuta okumala emyaka ebiri ng'abakulu tebamanyi.

Mu 2002 y'ansaba mmutwale mu bazadde tubanjulire ensonga.

Yakyala awa taata e Gaba ewa kitange omuto Mbogo ne yeeyama okundabirira n'omwana wange gwe yasanga nazaala. Oluvannyuma yantwala e Naalya mu 2002 n'andaga poloti w'agenda okunzimbira ennyumba.  

We namusangira, yalina omukazi nga baakamala emyaka esatu. Yangamba ekizibu kye ayagala kuzaala kubanga mukyalamukulu takyazaala.

ALEMERERWA OKUZAALA

Waayita omwaka mulamba, olubuto ne lugaana okukwata. Bandagirira ew'omusawo gwe bayita Erias e Kyebando n'ampa eddagala n'angamba nti kati nsobola okuzaala.

Nnywedde eddagala erya buli kika okuli egganda n'ezzungu n'ewa Maama Fiina natuukayo ne bigaana.  

Nga July 24, 2004 natwala Ntege ewaffe e Rakai ne mmwanjula mu bakadde era twakomawo ffenna nga bamukkirizza okuntwala.

Mu 2008 yantuuza nti waliwo ensonga gye tulina okwogerako nangamba nzizeeyo omwana wange ewaabwe mu kika kye era nahhaana okukola.  

Yangamba nzireyo ewa Dokita Erias addamu ankebere, olwaddayo Dokita yahhamba nti tukebere n'omusajja alabika naye aliko ekizibu.

 

EBYAVA EWA DOKITA BYASAJJULA EMBEERA

Ntege olwagenda ewa Dokita, teyangamba bivuddemu era embirigo we yatandikira.

Yatandika obutadda waka era yagenda aasomba engoye ze mpolampola okutuusa lwe yazimala mu nnyumba.

Yazzaako okugaana abapangisa obutankwasa ku ssente bwe namugambako n'angamba nti, mmuviire kubanga ago amaka yagagabira muwala we Hellen Nalumansi.

ANGOBERA KU LCI

Twagenda ewa ssentebe w'ekyalo Naalya, Kefas Gasuza ne tutuula mu lukiiko mwe yasinziira n'agamba nti agenda kungulira awalala naye mmuviire.

Tweyongerayo ku poliisi e Kira ne bagezaako okututabaganya naye n'alemerako nti, mmuviire."

BADDAYO KU POLIISI

Mu February 2017 omuserikale David Kagame yabayise ne balooya ba Nakyanzi, ssentebe w'ekyalo n'abataka.

Ntege ku poliisi e Kira bwe yabadde ayogera, yeegaanyi Nakyanzi n'agamba nti tabeerangako mukazi we, wabula yali yaaya gwe yaleeta okufumbira abazimbi emmere, era nti yamugulira ettaka ku ssente 300,000/- e Lyantonde era agenda kulimulambuza.  

Ssentebe atawala ekyalo ky'e Naalya Nakyanzi gy'abeera Kefas Gasuza, agambye nti yagezaako okuyingira mu nsonga zaabwe ne bigaana wabula Ntege n'agamba nti bamusibako omukazi.

Ntege yagambye nti ensonga zigenda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...