TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnemeddwa okufuna omukazi annywererako

Nnemeddwa okufuna omukazi annywererako

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd March 2017

Obutawulira wamu n’obwavu bwannemesa okuwasa. Nze simanyi oba Mukama awulira essaala zange, naye yandimponyeza olube abatuuze lwe bankuba nti sisobola mukazi kuba buli ajja ng’agenda.

Kola 703x422

Isa Bisabo

Kale mu buto nagenda ne ndwala omusujja era ne gunziba amatu naye nga nsobola okWogera wamu n’okusoma emimwa gy’omuntu ng’ayogera. Nze Isa Bisabo, nnina emyaka 28.

Mbeera Luweero mu Kikubo Zooni. Nnina obuzibu mu mukwano oba kahhambe nti sinnafuna mukisa mu bakazi kubanga naakawasa abakazi babiri naye nga bonna bagenda sitegedde kibatuute.

Olwatuuka nga mpasa omukyala wange gwe nnali mmaze ebbanga nga neegomba.

Mu kusooka twali mu mbeera nnungi era nga buli muntu atwegomba. Nnali sikkiriza mukazi wange kugenda mu nnimiro era nga muleka yeebase ne hhenda nnima.

Nakomangawo nga buli kimu kiri bulungi era ng’annyaniriza mu ssanyu ne kacaayi n’akampa.

Namugulira nga buli kye yali ayagala wadde ng’oluusi nalwanga wo olw’ebbula ly’ensimbi, yansuubizanga obutanvaamu era nange ne hhuma.

Kale saalowooza nti omukyala ono ankongooza bigere. Akaseera kaatuuka mukyala wange n’akyuka ng’awaka takyabeerawo abeera mu mikwano gye, nga bakola lugambo.

Munnange eyo gye yaggya emize n’atandika obutakyanfaako wamu n’okunvuma nga bw’annangira obwavu n’obutawulira.

Nasooka ne ndowooza nti osanga olubuto lwe lumunkyayizza wabula hhenda okwekkaanya nga talina lubuto era n’ankakasa nti tayinza kunzaalira.

Bino byampisa bubi era wano we nnamanyira nti alinayo omusajja omulala.

Bwe yakimanya nti muguddemu n’asiba ebinye, n’agenda. Nnamala ekiseera nga ndi muwuulu wabula oluvannyuma ne nfunayo omukazi omulala.

Wabula naye yanneefuulira nga tandabirira. Yatandika obutampa mmere n’akola n’ebirala bingi okunnumya.

Yalaba simufaako kwe kusibamu ebibye n’agenda. Simanyi oba ndiddamu okufuna omukazi omulala, ate nsaba Katonda bwemba nfunye andeetere anaagumiikiriza embeera yange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...