TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Empewo za bajjajja zannemesa omuwala

Empewo za bajjajja zannemesa omuwala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2017

Nze Eric Kayizzi 28, mbeera Mpereerwe mu Kiyanja Zooni. Nnalina omuwala gwe nnayagala era embeera gye twalimu wadde teyali nnungi nga ya kwezimba nga bw’omanyi eby’ekivubuka, naye nga tulina essuubi mu maaso nti tujja kuba bulungi kubanga nze kuva dda ndi muvubuka muyiiya naddala mu by’okuzimba.

Pala 703x422

Kayizzi

Nnina Jjajja eyali omusawo w’ekinnansi era okuva obuto nga mmuyambako mu mbuga ye era ng’ebintu ebisinga mbimanyi.

Nnatuuka ekiseera nga ne bw’aba taliiwo nsobola okukola ku balwadde anti ng’obumanyirivu mbulina nga n’ebikoola by’eddagala mbimanyi.

Mu 2010, jjajja yakyusa eby’obusawo n’abivaako n’adda mu ddiini. Ebintu bye byonna nabisigalamu n’empewo zonna ne zidda ku nze kyokka nga mu kaseera kano nnali nfunye omuwala nga mmwagala okukamala.

Nnatandika okujjanjaba abantu ab’enjawulo era ng’okusinziira ku nkola yange abantu baali basiima kubanga nnalaba nga n’omuwendo gw’abalwadde gweyongera buli kiseera.

Nnamanyika nnyo mu Kakunkugu ne mu Kawempe kuba abantu bajjanga bangi nga babuuza embuga yange weeri era eby’okuzimba nabikendeeza kubanga ebiseera ebisinga nabeeranga ku mbuga naye nga si we nsula nga nnina omuzigo gwe nnapangisa era ng’omuwala ono atera okujja okundabako ne twesanyusaamu ng’abaagalana.

Wabula nga June15, 2016, nnalulungi wange yajja okundabako. Nnasooka kumutwalako mu kafo akasanyukirwamu ne tunywamu nga bulijjo era oluvannyuma ne tudda ewaka.

Twanaabako bulungi era ne tuteekamu ka firimu nga bwe yali enkola yaffe, ne tutandika okulaba.

Bwe yaggwaako ne tweyuna obuliri, wabula tuba tuli mu kikolwa ky’abaagalana ne ntandika okuwulira nga seetegeera ng’embeera gye ndimu yeeyo gye mbeeramu nga bajjajja bajja.

Nnafunamu okutya nga ndaba bagenda kunnemesa okubaako kye nneekolera naye Katonda yannyamba ne binvaako mpola nga tewali kye bankoze era twagenda mu maaso n’akazannyo.

Waayita eddakiika nga 20 era ne nziramu okuwulira obubi era nagenda okulaba nga tewakyali kya kukola ng’empewo zinninnye olwo ye munnange ye yawulira byonna bye nnalombojja , era yabimbuulira nzize mu mbeera zange eza bulijjo.

Nagenda okuddamu okutegeera nga munnange mmulaba ajugumira ng’alimu musisi.

Namwekalizaamu ne mubuuza ky’abadde n’anyinyonnyola byonna bye mbadde njogera, ne byembadde nkola. Namugumya naye nga nsiwa nsaano ku mazzi.

Yambuuza nnina ensimbu ne mugamba nedda. Namugamba amazima nti nnina lubaale.

Yaguma ne bukya naye yafuluma ng’agenze mu kinaabiro okunaaba teyadda n’essimu yagyerabira kyokka teyaginona. Okuva olwo siddangamu kumulaba kyokka nga y

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...