TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amannya abaagalana ge beeyita agalaga obuka bwa laavu

Amannya abaagalana ge beeyita agalaga obuka bwa laavu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2017

ABAAGALANA balina amannya ge beeyita naddala nga baakalabagana, wabula bwe wayitawo ekiseera ne bagakyusa.

Fictionalcouplesthatmadeusbelieveinblackl217569145532087212dblbig 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano

ABAAGALANA balina amannya ge beeyita naddala nga baakalabagana, wabula bwe wayitawo ekiseera ne bagakyusa.

Amannya nga Hanne, sswiiti, kawoomera, bbebi n’amalala bangi ge beeyita nga baakalabagana, wabula bwe bagenda beemanyiira bagakyusa olwo munne n’atandika kumuyita maama gundi, Ono, Oli, n’amalala agatalaga mukwano.

Margret Nankya omutuuze w’e Nabulaga agamba nti okuva edda ng’abasajja balina amannya agasuusuuta omuli Kabirinnage, Kabirikaliri, Mukuuma, Muwoonya, Kaboona, Ndibasa, Kabejja n’amannya amalala mangi era ng’amannya gano gazzangamu abakyala amaanyi.

Waliwo abaatuumanga amannya okusinziira ku nneeyisa zaabwe; omuli Nakizaalizi olwo ng’omanya nti omukyala azaala nnyo, Muteefu oba Mirembe abo babeera baddembe era nga kizibu okuyomba, Bannakijjangaja nga bakyafu bazibu, Kyamummi abo babeera bakodo, Laddu oyo yabeeranga tawuliriza n’amalala.

Wabula ensangi zino yadde nga bingi byogerwa nti abantu bakyusa amannya ge beeyita mu mukwano okusinziira ku myaka gyabwe n’ebbanga lye bamaze mu bufumbo kino si kituufu kuba mulimu abaagalana b’osanga nga bamaze ebbanga mu bufumbo naye nga bakyakozesa mannya nga; Laavu, Kawoomera, Hanni, Kabiite n’amalala agalaga omukwano.

Wabula abamu bwe namala ebbanga mu bufumbo, amannya agasuusuuta bagasuula eri olwo munne n’amupaatiikako erinnya erirengezza.

Ate nno abamu batuuka n’okugassa ku nnamba z’essimu zaabwe, olwo munne bw’aliraba n’akaayuukana.

Waliwo abateeka mu ssimu amannya agabuzaabuza nga kye beewala be baagalwa baabwe obutamanya abantu abo be baba bakolagana nabo mu nkukutu.

Abatera okukola kino beebo abamanyi nti munne oluusi abbbirira essimu ye n’agikebera.

Okugeza omusajja bw’aba asuubula bijanjaalo ayinza okuwandiika amannya nga Fuso 1, Fuso 2.

Gano gakozesebwa n’abatunda omusenyu. Ate abakola mu ofi isi ayinza okuwandiikamu ofi isi desk n’ebirala.

Ate abakazi waliwo awandiikamu, dduuka, katale, supameketi, bbuca n’amalala alowoozese munne nti ennamba ezo za bantu abamuyamba okumufunira ebikozesebwa awaka.

William Bbosa Lubengo ddereeva wa takisi ku Hoima Road anyumya engeri gye yaddamu okukwana mukyala we ng’alowooza nti ali ku muwala gwe yali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera...

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera ku birungi bya NRM

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda