TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yeemulugunya, situuka ku ntikko

Omusajja yeemulugunya, situuka ku ntikko

By Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2017

OKUVA lwe natandika okwegatta situukangako ku ntikko era simanyi bwe bibeera. Ne baze yeemulugunya naye simanyi buzibu bwe nnina. Nze R.N e Kasubi.

Ssenga1 703x422

R.N mwana wange, omwami nga taneemulugunya alina okusooka okwebuuza kiki ky’atakola gwe kufuna ssanyu?.

Buli mukyala alina obusobozi okufuna obwagazi n’okutuuka ku ntikko. Wabula ekigaana abakyala obutafuna bwagazi oba obutatuuka ku ntikko oluusi basajja tebabanoonya, beegatta mu biseera nga si beetegefu ate nga n’ebirowoozo bingi.

Ate n’abakyala bangi beegatta kutuusa mukolo kubanga bafumbo oba omwami ayagala kwegatta.

N’ekirala waliyo bw’oba osobola okufuna obwagazi, olina okukimanya nti okumala osobolera ddala.

Obwagazi singa buyitirira ekiddirira kutuuka ku ntikko. Bw’oba ofuna obwagazi, yamba omwami wo akunoonye bulungi kubanga nsuubira omanyi bulungi ebifo ku mubiri gwo awali obusimu obukuleetera obwagazi.

Abakyala mukimanye nti abasajja bangi balowooza nti okumala kulina okubeerawo mu bakyala nga bwe kuli mu basajja.

Tebamanyi nti omukyala okutuuka ku ntikko n’omusajja alina okufaayo okulaba ng’omukyala afuna essanyu.

Obuvunaanyizibwa bw’omusajja n’omukazi kwenoonya n’okwesanyusa mu kwegatta.

Kale omukyala yamba munno amanye ekikusanyusa ng’ekisookera ddala olina okufuna obwagazi olwo otuuke ku ntikko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe