TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze eyatuleeta mu Uganda atudduseeko

Baze eyatuleeta mu Uganda atudduseeko

By Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2017

NZE Esther Shukuru, ndi mutuuuze w’e Tanzania e Bukoba. Ennaku gye mpiseemu wano mu Uganda ndifa njirojja.

Yamba1 703x422

Shukuru

NZE Esther Shukuru, ndi mutuuuze w’e Tanzania e Bukoba. Ennaku gye mpiseemu wano mu Uganda ndifa njirojja.

Baze yandeeta mu Uganda okuva e Tanzania ng’annimbye nti yazimba ennyumba e Mukono. Kyokka okuva lwe yandeeta, yanzirukako kati myezi esatu simanyi gye yalaga.

Mbadde maze emyaka etaano ne baze era mulinamu abaana basatu.

Ekinnuma nti yagenda n’ebintu ng’engoye omwali n’ez’abaana, essimu n’ebikozesebwa byonna.

Omusajja ono okuva awaka yagenda ng’agamba nti agenze kugula byakukozesa waka naye siddangamu kumulabako.

Okumanya omusajja ono mujoozi, yanteeka mu nnyumba enzimbe naye si yiye kyokka n’abba ne ssente zange ze mbadde nkuηηaanya okumala ebbanga nga ziweze obukadde buna.

Tewali muntu yenna gwe mmanyi mu Uganda era nsaba omuzirakisa yenna asobola okunfunirayo ku ssente annyambe nzireyo e Tanzania.

Mu maziga agajulujulu, Shukuru agamba nti e Mukono gye babeera, waliwo maama Yoweri y’abadde abayamba naye kati naye atandise okubagobaganya kuba talina ky’abaliisa ate nga n’ennyumba mwe basula ntono ddala tebajaamu n’abantu b’alina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...