TOP

Miiro anneekweka

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2017

NZE Rebecca Nagawa, nnina emyaka 19 nga mbeera Namasuba.

Bala 703x422

Nagawa

Mu 2015 nafuna mukwano gwange omulenzi era nga tetuteηηana nga tukirako abalongo anti ewaabwe baali bammanyi nga n’ewaffe bamumanyi.

Simanyi gye yafunira kirowoozo n’atandika okunkwana. Nange olw’okuba nnali ndudde naye era nga mmanyi buli ekimukwatako, kyannyanguyira okumukkiriza.

Twayagalana ne Miiro naye nga tetugenda mu bikolwa bya bafumbo okutuusa lwe twakemebwa.

Twamala ebbanga nga tweyagala okutuusa lumu Miiro lwe yannoonya nga tandaba kwe kugenda ewa maama n’amubuuza gye nnali era bwe yamuyombesa n’amuddamu bubi maama n’atabuka.

Maama yannyombesa ng’alowooza nti nze natumye Miiro era okukkakkana nga maama angobye awaka. Nasalawo okugenda e Ndejje ewa mukwano gwange mbeere naye wabula saamanya nti nnali ηηenze n’olubuto.

Waayita emyezi ebiri, mu 2016 ne ndaba nga sigenda mu nsonga era nagenda okwekebeza nga ndi lubuto. Nava e Ndejje ne ηηenda e Namasuba ηηambe Miiro nti ndi lubuto wabula tewali kye yannyega yatambula n’anviira n’andeka we twali tutudde.

Yannekweka ne munoonya n’ambula ng’ate yali akimanyi nti sirina gye mbeera anti nga ne mukwano gwange e Ndejje angobye ate nga ne maama yangoba dda.

Natandika okupanga obulamu nga bwe nsula mu bibanda ne mu bbaala ez’enjawulo.

Waliwo omukyala eyali atunda amanda nga bamuyita Nakato eyansembeza ne ntandika okubeera mu kabanda ke era ne ntandika n’okunywa eddagala ng’annyamba mu buli kimu wadde naye yatuuka ekiseera n’ankoowa.

Naddamu okutaayaaya ku kyalo anti nga sirina we nsula kyokka ne Miiro ng’anneewala. Mu kiseera kino sirina wembeera ate tewali ky’ampa ate nga naatera okuzaala, ndi mu myezi musanvu.

Miiro aneewala ate n’ewuwe takyabeerayo nga n’essimu gye nnali mmanyi yagiggyako. Simanyi kyakukola era nsaba abazirakisa bampe ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gala 220x290

Aba ManCity tebajulira Bravo

CLAUDI Bravo ayolekedde okuvundira ku katebe mu Man City oluvannyuma lw’Omubrazil Ederson, eyaakagulwa mu Benfica...

Gobwa1 220x290

Owa Leicester City akwatiddwa ku...

Leicester, eyawangula Premier mu sizoni ya 2015-16 efuumudde omutendesi Craig Shakespeare olw’okulemwa okulinnyisa...

Waga 220x290

Liverpool etimpudde Maribor ggoolo...

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atenderezza abazannyi be obuteesaasira nga bawuttula Maribor eya Slovenia...

Banga 220x290

'Real Madrid egule Harry Kane'...

EYALIKO Pulezidenti wa Real Madrid, Ramon Calderon awadde abakungu ba ttiimu eno amagezi, okugula Harry Kane okumuggya...

Pala 220x290

Engeri gy’osaggula omukwano mu...

ABASAJJA bangi mulemwa okusaggula obuwoomi bw‛akaboozi ate ne mwekwasa ng‛abakazi bwe batabacamudde, so ng‛ensobi...