TOP

Mukyala wange tayagala kumunenya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Mukyala wange bwe mmunenyaako akuyita kuyomba, so nga mugamba tewali busungu. Mpa ku magezi.

Ssenga1 703x422

Andrew Kiwanuka e Kiwololo Lwajje. Waliyo abantu nga tebaagala kubanenya era ng’okumunenya alaba ng’amuyombesa oba amuvuma.

Embeera eno abasajja era n’abakyala bagirina. Abantu abasinga balowooza nti baatuukirira era tebakola nsobi era tebawabulwa.

Era omuntu alina embeera eno abeera muzibu nnyo kubanga buli kiseera alaba nga y’amanyi abalala tebamanyi.

Mpozzi n’ekirala, oluusi ssinga omuntu tomunenya bulungi ayinza okukitwala obubi.

Munenye ng’omubulira lwaki ky’akola kibi era ssinga ayongera okukikola kiki ekivaamu.

Munenye ng’ali mu mbeera ennungi, tomunenya nga yaakakola ekintu ekyo.

Ate oluusi kiba kirungi okweyambisa abantu be yeesiga ne bamunenya bulungi.

Anti waliyo emyaka mu bufumbo nga buli omu talabawo munne. Kale ng’omuntu omulala ayinza okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini