TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obwavu bwannemya omuwala ne bangoba ku buko

Obwavu bwannemya omuwala ne bangoba ku buko

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

NZE Musa Mudondo, 32, nkolera ku nnyanja y’e Kiyindi nga ndi musuubuzi wa byennyanja.NZE Musa Mudondo, 32, nkolera ku nnyanja y’e Kiyindi nga ndi musuubuzi wa byennyanja.

Will 703x422

Musa Mudondo,

Mu 2016, nafuna omukyala ne mmwagala n’obulamu bwange bwonna kubanga yali wampisa, yasoma, muyiiya okwo kw’ossa obulungi bwe wamma nga toyinza kumubuusa maaso.

Bwe yanzikiriza, twasalawo tukole amaka era ne tugenda ewa muganda we andabe nange ne mutwala alabe ku b’ewaffe era baamusiima.

Nga wayiseewo omwaka gumu n’ekitundu, yafuna olubuto ekintu ekyansanyusa.

Nga luwezezza emyezi etaano, yansaba agende mu kyalo alabe ku nnyina nange ne nzikiriza. Bwe yatuuka mu kyalo yategeezaako nnyina ku nsonga eno era nnyina n’ansaba ηηende mmulabeko era tukyale.

Kino kyansanyusa kubanga nnali neesunga ddala okulaba anzaalira omulungi.

Nagamba mukyala wange nsooka kwetereeza ng’omusajja tuguleyo ku bintu bye tunaatwala ewa maama era mu wiiki bbiri nnali maze okufuna ssente ezigula ebintu nga ssukaali, amafuta, omunnyu, omuceere, ssabbuuni ne ssente z’abbaasa.

Olwatuuka ewa maama w’omukyala, yambuuza ebibuuzo biyitirivu ate nga munyiivu okuva bwe twatuuka kubanga n’akamotoka ke twagenda nako kaali kakadde era nnali nkeeyazise ku mukwano gwange.

Nnyazaala yambuuza nasoma kwenkana ki ne mugamba saasoma nnyo kuba ge gaali amazima, n’ambuuza oba nninayo ku nnyumba eyange ne mugamba tukyapangisa naye nsuubira okuzimba, n’ambuuza famire yaffe oba ya bbeeyi n’amannya ga taata wange ne ky’akola era ne mugamba nti taata wange mulimi.

Haha, nnali simanyi nti okwogera amazima gonna nnali nneesimira kinnya bantu bange, omukazi yanyiga!

Yalaga nti tansiimye era n’aηηamba ebigambo bino wammanga. ‘Ggwe ssebo wange, lwaki abasajja abaavu mmwagala okwesiba ku baana ba bannammwe abalungi, gwe ataasoma, tolina nnyumba wadde poloti laba n’akamotoka k’olina kakekete …. Kale kisajja gwe onyiinza.

Sijja kukukweka era ne muwala wange ηηenda kumunenya okufuna olubuto mu musajja omunaku nga gwe’.

Nawuniikirira nga mpulira nswadde kubanga yanvumira mu maaso ga mukwano gwange gwe nnali ηηenze naye ate nga n’akamotoka ke banvumira kake.

Olunaku olwo lwe lukyasinze okunyiiza mu bulamu bwange kubanga neevuma mu mutima lwaki Mukama yantonda mu maka agataliimu ssente aba ag’abantu abatamanyiddwa kubanga nnyazaala wange yaηηamba nti kale ssinga obadde mwana wa mugagga oba wa muntu amanyikiddwa kyandibadde kalekaleko.

Yamaliriza agamba nti nve ku muwala we era siddayo naye ηηende nnoonyeeyo omwana w’omwavu agya mu kiraasi yange kubanga ye omwana we yamuteekamu ssente nnyingi ezisoma tasobola kumukkiriza kumuleetera kisiraani nga nze.

Waayita wiiki emu ng’omuwala ajja ewange. Nnasanyuka kuba nnali mmanyi nti kirabika akomyewo ye anjagala, wabula kyambuukako omuwala bwe yaηηamba nti anonye ngoye ze kuba naye akirabye nti ajja kubonaabona ng’omwavu.

Bwe namubuuza ku by’omwana wange yantegeeza olubuto bwe baaluggyeemu enkeera w’olunaku lwe nava ewaabwe era nga maama we ye yamutwala balugyemu.

Ebyange n’omuwala w’omugagga we byakoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba