TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu ebinyiiza abawala bye bakola nga bagenze ewa baganzi baabwe

Ebintu ebinyiiza abawala bye bakola nga bagenze ewa baganzi baabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2017

ABAANA ab’obuwala ennaku zino balina engeri gye beeyisaamu nga bagenze mu nnyumba za baganzi baabwe ne zitabasanyusa.

Pampa 703x422

Omuwala ng’atudde ku buliri bwa muganzi we gwe yakyalidde.

Abamu babikola mu butamanya ate abalala ne babikola nga baagala okulaba kye bayinza okubakola ne kivaako abamu okusubwa abasajja abaandibawasizza.

1 Obutategeeza mwagalwa ng’ogenda ewuwe; Abawala balina omuze gw’obutasooka kutegeeza munne ng’agenda okukyala ng’akirako nnyinimu oba ng’omusajja alinga eyamuwasa. Kino kinyiiza abasajja kuba abamu baba balina okusooka okutereeza awaka ssinga oba omusuubizza nti onojja.

2 Okuwa essimu obudde obungi okusinga baganzi baabwe; Bw’aba atuuse awaka, mu kifo ky’okulongoosa tugambe awaka oba okuwa muganzi we obudde okunyumya ku bibazimba, abeera ku whatsapp ng’anyumya na bantu balala. Kino kiggya abasajja mu mbeera n’oluusi okuleetawo okutabuka mu baagalana bano.

3 Okwambala obuwale oba engoye z’omusajja; Abasajja abamu kino tebakifaako naye abalala kano bakayita kamanyiiro. Abawala beenaanika obuwale bw’abasajja oba amasaati gaabwe kyokka ng’abamu tebibatuuka naye nga mu kino baba baagala okulaga nti be baliwo. Kale oba olina okwegendereza naddala ng’okimanyi nti muganzi wo yeeronda.

4 Okuleka engoye zaabwe ew’abasajja; Abasajja abamu naddala abavubuka kibanyiiza ssinga abawala baleka engoye zaabwe kuba abamu baba bakyanoonya bawala be banaawasa. Abawala abamu kano bakakozesa nga katego nti singa omuvubuka akyaza omuwala omulala atali ye n’alaba engoye z’omuwala kiyinza okumulemesa okumuganza ne beerabira nti kino kiyinza okubagobako abasajja baabwe.

5 Tebakyayina mpisa; Abawala abamu tebakyalina mpisa ng’ayinza n’okutuuka ewa muganzi we n’atamubuuza wabula n’adda ku buliri ne yeebaka oba n’akola bibye. Abalala tebassaamu baagalwa baabwe kitiibwa ng’ate empisa n’ekitiibwa bye bimu ku bikuuma omukwano.

6 Okwefuula mikwano gwa mikwano gya muganzi we; Abawala batijja ne mikwano gya baganzi be nga bakirako abaalabagana edda. Kino abasajja kibanyiiza era oluusi ne kibaleetera okukwekengera. Kyandibadde kirungi n’obaako w’okoma ku mukwano gw’olaga mikwano gya muganzi wo bw’oba oyagala okuwangaaza omukwano gwammwe.

7 Okukyaza mikwano gyabwe ew’omusajja; Bakyaza nnyo mikwano gyabwe ne beefuga amaka g’omusajja ng’akirako eyawasibwa kyokka ne beerabira nti mu mikwano gy’aleese mwe Ssenga ne laavu ya Dot. Com muyinza okuva amutwalira omusajja. Kino kiva mu kusoomoozebwa abasajja kwe bafuna okuva abawala bano oluusi abajja nga bayambadde obugoye obusikiriza.

8 Okubuuliriza buli ky’alabye; Abawala batuuka mu maka g’abaganzi baabwe ne batandika okubuuliriza buli kimu naddala ebiri mu nnyumba n’ebitamukwatako ebinyiiza abavubuka oli n’atuuka n’okwevuma olunaku lwe yakutwala ewuwe.

9 Tebafaayo kukuzimba; Omukyala yenna anaawangaala n’omusajja aba afaayo okumuzimba naye ab’ennaku zino basinga kusaba ssente nga tebafudde nayo gye zivudde ekimu ku byanguyiza omusajja okukukyawa kuba aba talina ky’akufunamu olwo n’anoonya abanaamuzimba.

10 Ennyambala; Abawala ennaku zino basusse okwambala enkunamyo wadde ng’abamu bye baba, baagala naye omuwala bwasussa okukunama, kiba kizibu okumuwa ekitiibwa naddala ssinga muganzi we abaamu eddiini oba nga yakuzibwa mu bantu babuvunaanyizibwa.

11 Enjogera; Enjogera y’omukazi nayo eraga muganzi we oba ddala omuntu gw’alina ye mutuufu. Abamu boogera baboggoka ekinyiiza abasajja kuba abasajja abasinga baagala mirembe.

Kansala Edith Mukisa agamba nti abawala okweyisa obubi kisinga kuva gye maka gye baakulira, wabula omuwala yenna ng’ayagala okuwangula omutima gwa muganzi we alina okukola bino;

Mukisa agamba nti abawala ennaku zino beeyisa mu ngeri etesaana nga bali mu maka ga baganzi baabwe. Kino kivuddeko abafumbirwa ennaku zino okubeera abatono. Naye omwana omuwala ng’ayagala okufumbirwa alina okubeera omwegendereza ku ngeri gye yeeyisaamu.

Ayongerako nti omuwala yenna ng’ali mu maka ga muganzi we yandimulaze empisa kuba kino kiyamba okumuwangula omutima. Abavubuka oluusi aba omuleese mu maka ng’ayagala kulaba mpisa kw’anaava okumuwasa.

Bw’atyo omuwala ayagala okuwangula omutima gwa muganzi we alina okumulaga obuyonjo nga bw’atuuka ewa muganzi we ng’alaba waliwo ekyetaagala okuyonja ng’amulongoosa, oba okwoza n’okuddaabiriza buli kimu.

Mukisa agamba nti kibi omuwala okwepakula ng’ali mu nju ya muganzi we n’okwerondalonda kuba kino kimumalako emirembe.

Abawaka b’ennaku zino baafuuka bagenyi nga bw’atuuka mu maka aba ayagala omusajja y’aba amudaabiriza mu kifo mu kifo kya ye okumubudaabuda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600