TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 12 ebiremesa obufumbo bw’ennaku zino okuwangaala

Ebintu 12 ebiremesa obufumbo bw’ennaku zino okuwangaala

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2017

OBUFUMBO bungi ennaku zino bufi ira ku lunaku lwa mbaga, era bangi tebaweza wadde omwaka nga buli omu yakutte dda erirye.

Jjingo1 703x422

Isabirye ne Jjingo tebawangaala mu bufumbo

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

OBUFUMBO bungi ennaku zino bufiira ku lunaku lwa mbaga, era bangi tebaweza wadde omwaka nga buli omu yakutte dda erirye.

Ezimu ku mbaga ezizze zibaawo omuli ey’omumbejja w’e Toro, Ruth Komuntale ne munne Thomas Christopher eyaliwo mu 2013, Rebecca Jjingo ne bba Joel Isabirye,  eyaliwo mu 2015, Titie Tabel ne Katongole, Stacia Mayanja ne Kitaka n’abalala bangi, bonna mu mbeera y’obufumbo baawunyayo buwunya ne babinnyuka.

Bro. Augustine Ssekibule Ssabafumbo wa Kampala agamba nti ezimu ku nsonga eziremesa obufumbo bw’ennaku zino okuwangaala mulimu;

1 Abantu tebakyamanyi kigambo kwagala, era batono abayingira mu bufumbo nga bakulembeza okwagala. Abasinga batunuulira bintu, oba eby’oku ngulu nga bwe biggwaawo aba takyalaba kikusiba mu mufumbo.

2 Abamu bagenda mu bufumbo nga tebamanyi kituufu kibeeramu n’ebibasuubirwamu. Obufumbo bulimu emitendera esatu omuli; omukwano ogw’ekimmemmette nga mwakalabagana. Ogwokubiri buli omu okutandika okumanya embeera za munne omutuufu era nga kino kibaawo naddala nga mugenda kuweza omwaka mu bufumbo. Wano w’otegeerera  munno buli kyali ekituufu, omubbi, omuyombi, akuba, atagaba, atafaayo, n’ebirala era wano obufumbo ebiseera ebisinga butandika okuyuuga.

Ku gwokusatu, nga gwe gusinga obuzibu era  abasinga we balemererwa kwe kwandibadde omuntu okumanya engeri gy’asobola okubeeramu ne munno wamu n’okumuyamba olwebikolwa bye musobole okutambulira awamu. Kyokka wano abasinga we baawukanira, kubanga baba tebaayigirizibwa bufumbo kye ki nga batandika.

 baagalana nga bali mu mukwano Abaagalana nga bali mu mukwano.

 

3 Obutateekebwateekebwa bulungi. Mu ddiini ebbanga abagole lye bamala nga basoma liba ttono ddala kuba ebibeera mu bulamu bw’obufumbo bingi. Mu Bakatoliki giba emyezi esatu, naye ate mu nzikiriza endala waliwo abasoma emirundi ebiri gyokka. Olwo baba batendekeddwa ki?

Ate abali mu bufumbo bw’obuwangwa, abasinga teri afaayo kubabuulirira. Oluusi bwe babuulirira ku muwala, omusajja tebaayo amunyega.

4 Waliwo abayingira mu bufumbo nga tebasoose kwefumiitiriza ku buzito bwabwo, wabula nga ye afa kimu kwambala kaweta ku ngalo. Era kino kireeseewo obufumbo okuba obwekiseera ekigere (contract)nga n’ebiseera ebisinga omu ku bafumbo aba tamanyi bigendererwa bya munne na ndowooza ye eri obufumbo.

5 Emikutu gya mawulire (social media) nagyo girina engeri gye gitabangulamu obufumbo olwebyo ebiteekebwako oluusi ebinafuya obukulu bw’obufumbo, era abisoma bw’aba tamanyi kusengejja, yeesanga eby’obufumbo abivuddemu.

6 Rev. Abraham Kisakye Lubega asomesa bafumbo ku Lutikko e Namirembe agamba nti ebifo abaagalana gye basisinkana nayo wakola kinene ku ky’obufumbo okuguma oba okuggwaawo amangu.

Okugeza abantu kati beefunira ku ‘social media’ ne basiimagana n’ekivaamu kutegeka mbaga, nga tewali amanyi munne. Ab’ekika kino bwe bafuna obutakkaanya baba balina kwawukana.

7Ebifo ebitongoza obufumbo bisusse obungi. Edda ng’okufuna obufumbo obutukuvu oteekeddwa kugenda mu Muzigiti, Ekkanisa oba klezia era nga si kyangu okugattibwa ng’oliko akabuuza olw’emitendera egyayitwangamu. Naye kati  buli wamu bagatta era buli ayagala akkirizibwa okugatta.

8 Obufumbo bwafuuka bwa byanfuna era bangi babuyingira nga baagala kufunamu, era omu bw’afuna by’abadde ayagala ng’ebyobufumbo abivaamu.

9 Ye Sheikh Kassim Kiyingi, omusomesa ku nsonga z’obufumbo n’okuteekateeka abagenda okufumbirwa agamba nti obufumbo tebukyawangaala kuba obuggya n’ebbuba byasukka mu bantu ekibalemesa okugumira embeera.

10 Emikwano n’ehhanda nabyo oluusi biyingira mu bufumbo ne bufa, naddala ng’ababulimu tebafuddeyo kusigala wamu.

11 Emirimu n’abafumbo okusuula obuvunanyizibwa nayo nsonga nnene kuba abamu beerabira bye bateekwa okukola ekiyinza okukaluubiriza munne n’abivaamu.

12 Bankuba kyeyo oluusi bakola embaga si lwa kwagala, wabula nga balina ebigendererwa birala ng’okufuna visa z’amawanga amalala. Ate abalala ayinza okuba ayagala bufumbo, wabula embeera y’obutabeera wamu n’ebakaluubirira buli omu n’afunayo omulala.

 Ebisobola okukolebwa:

  • Okwekwata Katonda n’okujjukira ebirayiro bye mwakola mu maaso ga Katonda. Kino kijja kubayamba okufuna ensonyi eby’okwawukana mubiveeko.
  • Okunyweza empuliziganya wakati w’abafumbo wamu n’okwewala ebiyinza okuvaako okusika omuguwa. Okugeza lwaki essimu ya munno ogyesibako?
  • Abayima b’abafumbo n’abasomesa baabwe mu nsonga z’obufumbo okufaayo okulondoola abaakafumbirwa n’okubabudaabuda.

l Okusomesa abafumbo kubeere kw’abo bokka abasaanidde. Okugeza bassenga abatali bafumbo beewale okusomesa ku bufumbo ate era kuteekebwe ne mu masomero omwana ave wansi ng’amanyi  amakulu g’obufumbo.

lAbafumbo okwewa ekitiibwa wamu n’obutateekawo luwonko wakati waabwe nga bateekawo empuliziganya. 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

OBUFUMBO bungi
ennaku zino bufi ira
ku lunaku lwa mbaga,
era bangi tebaweza
wadde omwaka nga buli omu
yakutte dda erirye.
Ezimu ku mbaga ezizze
zibaawo omuli ey’omumbejja
w’e Toro, Ruth Komuntale ne
munne Thomas Christopher
eyaliwo mu 2013, Rebecca
Jjingo ne bba Joel Isabirye,
eyaliwo mu 2015, Titie Tabel ne
Katongole, Stacia Mayanja ne
Kitaka n’abalala bangi, bonna
mu mbeera y’obufumbo baawunyayo
buwunya ne babinnyuka.
Bro. Augustine Ssekibule
Ssabafumbo wa Kampala
agamba nti ezimu ku
nsonga eziremesa obufumbo
bw’ennaku zino okuwangaala
mulimu; 1 Abantu tebakyamanyi
kigambo kwagala, era batono
abayingira mu bufumbo nga bakulembeza
okwagala. Abasinga
batunuulira bintu, oba eby’oku
ngulu nga bwe biggwaawo aba
takyalaba kikusiba mu mufumbo.
2 Abamu bagenda mu
bufumbo nga tebamanyi kituufu
kibeeramu n’ebibasuubirwamu.
Obufumbo bulimu emitendera
esatu omuli; omukwano
ogw’ekimmemmette nga
mwakalabagana. Ogwokubiri
buli omu okutandika okumanya
embeera za munne omutuufu
era nga kino kibaawo naddala
nga mugenda kuweza
omwaka mu bufumbo. Wano
w’otegeerera munno buli kyali
ekituufu, omubbi, omuyombi,
akuba, atagaba, atafaayo,
n’ebirala era wano obufumbo
ebiseera ebisinga butandika
okuyuuga.
Ku gwokusatu, nga gwe gusinga
obuzibu era abasinga we
balemererwa kwe kwandibadde
omuntu okumanya engeri
gy’asobola okubeeramu ne
munno wamu n’okumuyamba
olwebikolwa bye musobole
okutambulira awamu. Kyokka
wano abasinga we baawukanira,
kubanga baba tebaayigirizibwa
bufumbo kye ki nga
batandika. 3 Obutateekebwateekebwa
bulungi. Mu ddiini ebbanga
abagole lye bamala nga basoma
liba ttono ddala kuba ebibeera
mu bulamu bw’obufumbo bingi.
Mu Bakatoliki giba emyezi
esatu, naye ate mu nzikiriza
endala waliwo abasoma emirundi
ebiri gyokka. Olwo baba
batendekeddwa ki?
Ate abali mu bufumbo
bw’obuwangwa, abasinga teri
afaayo kubabuulirira. Oluusi
bwe babuulirira ku muwala,
omusajja tebaayo amunyega. 4 Waliwo abayingira mu
bufumbo nga tebasoose kwefumiitiriza
ku buzito bwabwo,
wabula nga ye afa kimu kwambala
kaweta ku ngalo. Era kino
kireeseewo obufumbo okuba
obwekiseera ekigere (contract)
nga n’ebiseera ebisinga omu ku
bafumbo aba tamanyi bigendererwa
bya munne na ndowooza
ye eri obufumbo. 5 Emikutu gya mawulire
(social media) nagyo girina
engeri gye gitabangulamu obufumbo
olwebyo
ebiteekebwako
oluusi ebinafuya
obukulu
bw’obufumbo,
era abisoma
bw’aba
tamanyi
kusengejja,
yeesanga
eby’obufumbo
abivuddemu.
6 Rev.
Abraham Kisakye
Lubega asomesa
bafumbo ku Lutikko e
Namirembe agamba nti ebifo
abaagalana gye basisinkana
nayo wakola kinene ku
ky’obufumbo okuguma oba
okuggwaawo amangu.
Okugeza abantu kati
beefunira ku ‘social media’
ne basiimagana n’ekivaamu
kutegeka mbaga, nga tewali
amanyi munne. Ab’ekika kino
bwe bafuna obutakkaanya baba
balina kwawukana. 7Ebifo ebitongoza obufumbo
bisusse obungi. Edda
ng’okufuna obufumbo obutukuvu
oteekeddwa kugenda
mu Muzigiti, Ekkanisa oba
klezia era nga si kyangu
okugattibwa ng’oliko akabuuza
olw’emitendera egyayitwangamu.
Naye kati buli wamu
bagatta era buli ayagala akkirizibwa
okugatta.
8 Obufumbo bwafuuka
bwa byanfuna era bangi babuyingira
nga baagala kufunamu,
era omu bw’afuna by’abadde
ayagala ng’ebyobufumbo
abivaamu.
9 Ye Sheikh Kassim
Kiyingi, omusomesa ku
nsonga z’obufumbo
n’okuteekateeka
abagenda okufumbirwa
agamba
nti obufumbo
tebukyawangaala
kuba obuggya
n’ebbuba byasukka
mu bantu ekibalemesa
okugumira embeera. 10 Emikwano
n’eηηanda nabyo oluusi
biyingira mu bufumbo ne bufa,
naddala ng’ababulimu tebafuddeyo
kusigala wamu. 11 Emirimu n’abafumbo
okusuula obuvunanyizibwa
nayo nsonga nnene kuba
abamu beerabira bye bateekwa
okukola ekiyinza okukaluubiriza
munne n’abivaamu. 12 Bankuba kyeyo oluusi
bakola embaga si lwa kwagala,
wabula nga balina ebigendererwa
birala ng’okufuna
visa z’amawanga amalala. Ate
abalala ayinza okuba ayagala
bufumbo, wabula embeera
y’obutabeera wamu
n’ebakaluubirira buli omu
n’afunayo omulala.
EBISOBOLA OKUKOLEBWA:
 Okwekwata Katonda
n’okujjukira ebirayiro bye mwakola
mu maaso ga Katonda.
Kino kijja kubayamba okufuna
ensonyi eby’okwawukana mubiveeko.
 Okunyweza empuliziganya
wakati w’abafumbo wamu
n’okwewala ebiyinza okuvaako
okusika omuguwa. Okugeza lwaki essimu ya
munno ogyesibako?
 Abayima b’abafumbo n’abasomesa
baabwe mu nsonga z’obufumbo okufaayo
okulondoola abaakafumbirwa
n’okubabudaabuda.
 Okusomesa abafumbo kubeere kw’abo
bokka abasaanidde. Okugeza bassenga abatali
bafumbo beewale okusomesa ku bufumbo ate
era kuteekebwe ne mu masomero omwana
ave wansi ng’amanyi amakulu g’obufumbo.
Abafumbo okwewa ekitiibwa wamu
n’obutateekawo luwonko wakati waabwe nga
bateekawo empuliziganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.