TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ziizino sitayiro za laavu ezitambula n’emyaka gy’olina

Ziizino sitayiro za laavu ezitambula n’emyaka gy’olina

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2017

ABAGANDA bagamba nti; “Amazina amayigirire gamenya omugongo..” Kino tekikoma ku mazina gokka, wabula buli kintu ky’okoppye kiyinza ate okukuleetera obuzibu.

Blackcouplesmiling 703x422

Ennaku zino abantu balaba ebintu eby’enjawulo ebyekuusa ku mukwano naddala obukodyo bw’omu kisenge ne baagala okuzikoppa.

Waliwo ababufunyeemu ne bongera ebirungo mu mukwano gwabwe, naye ate waliyo n’abanyiga ebiwundu.

Dokita William Mutebi ng’akola n’ogwokubuulirira abafumbo e Ntebe agamba nti waliwo sitayiro z’omukwano eziyinza okukosa abafumbo abamu, sso ng’abalala zibagendera bulungi.

WAKATI W’EMYAKA 18 NE 25:

Bano baba bakyali bato mu birowoozo era nga babeera baakamanya ebintu ebitonotono ku mukwano.

Baba bavumbuzi era ebiseera ebisinga beegatta kwesanyusa so si kuzaala.

Batera okwettanira sitayiro nga ey’omusajja okusinziira emabega, omuwala okubeera mu mitambo n’endala.

Ekirungi ky’emyaka gino engeri gye baba bakyali bato, baba basobola okukola buli kimu awatali kukaluubirizibwa.

EMYAKA 25 NE 35:

Bano baba baluddeko mu kisaawe ky’omukwano era baba n’amaanyi mangi, wadde ng’obwagazi buba butandise okwesala.

Ku ludda lw’abasajja baba baagala okuteeka mu nkola byonna bye baayiga mu myaka gy’okuvumbula.

Abasinga baba ne famire naye era ebintu biba bikyabawoomera. Bana bakyasobola sitayiro zonna ez’ekivubuka wadde ng’abasinga bettanira misonale, kajiiko, ey’ekigaali n’endala ezongera okubalaga nti bakyalimu endasi.

WAKATI W’EMYAKA 36 NE 50:

Mu myaka gino buli omu aba ategedde bulungi omubiri gwe, era ng’ensonga z’omukwano tezibakwasa nsonyi.

Ku ludda lw’abakyala abamu baba tebakyazaala ekibayamba ebirowoozo okweta obulungi ne banyumirwa omukwano.

Wadde abasinga balowooza nti amaanyi gakyabawala, naye weesanga ng’obukodyo obumu butandika okubakaluubirira.

Sitayiro ya misonale y’esinga okubanguyira kuba teyeetaaga maanyi mangi ku njuyi zombi, ate ng’esobola okubamatiza obulungi.

Ekirala, engeri abamu gye baba bafunye ku mibiri, sitayiro ezimu nga kabuzi, kajiiko n’endala ezeetaaga okwesitula oba okwewanirira ennyo zitandika okubakaluubirira.

WAKATI W’EMYAKA 50 NE 70:

Mu myaka gino, abasajja Ab’ekika kino, beetaaga sitayiro ezibakuumira munda mu bukyala okusigala nga bakyalina amaanyi, era bw’afulumayo okumala akabanga ayinza okuggwaamu amaanyi.

Sitayiro z’okuyimirira, okwewanirira ennyo, okusitula ku munno n’endala ezeetaaga amaanyi bazigenda kitono.

Ate ku ludda lw’abakazi nabo omubiri guba gutandise okunafuwa nga sitayiro ezeetaaga amaanyi agawerako n’okwewanirira ennyo tebakyazisobola.

ABAKYALA ABAAKAZAALA BAKIKOLA BATYA?

Dr. Wilson Ngura okuva mu Norvik Hospital agamba nti omukyala eyaakazaala alina okugumiikiriza waakiri omwezi gumu, bw’aba azadde bulungi n’alyoka addamu okwegatta, ate bwe baba bamulongoosezza ebbanga eryo lisukkako okusobozesa nnabaana okudda obulungi mu kifo kye.

Ngura agattako nti omukyala bw’aba yaakazaala, sikirungi kutandikira ku sitayiro za maanyi kuba omubiri gwe guba gukyali munafu.

Ekirala mulina okukozesa sitayiro ezitawa musajja bbeetu kugenda wala nnyo kuba ebitundu by’omukazi ebyekyama biba bikyalimu obukosefukosefu, era n’obwagazi buyinza okuba obutono.

Musobola okukozesa ey’omukazi okudda waggulu kuba eno emuwa ekyanya okukola kyonna ekitaamukaluubirize, ate ng’omusajja tajja kukozesa maanyi mangi, kuba omukazi y’abeera mu mitambo.

Oba musobola okukozesa sitayiro y’okwerera, ng’omusajja atudde ku ntebe oba ku buliri, olwo munne n’amutuulako mpolampola ne kyetinda.

SITAYIRO EZIZUULIDDWAAMU EMIZE OKUSINZIIRA KU MYAKA

Dokita Innocent Mutyaba okuva e Mulago agamba nti omukazi awezezza emyaka 40 n’okudda waggulu alina okwesonyiwa sitayiro z’abavubuka nga kabuzi, ey’ekigaali, kabalaasi n’endala kubanga engeri gy’aba azaddeko, ebitundu ebizaala naddala nnabaana ayinza okukosebwa naddala ng’omuntu gwali naye tamubaliridde.

Sitayiro y’omukazi okubeera ku ngulu nnungi naye oluusi eyinza okukosa obusajja, naddala ng’omukazi gw’oli naye alina amaanyi mangi, oba ng’omusajja asussizza emyaka 50.

Obukodyo omuli okukomba ebbakuli, okumalira mu ffeesi, mu kamwa ne mu bitundu ebirala oluusi bizaasaanya endwadde, naddala ng’omuntu gwoli naye tomwekakasa.

Dr. Mutyaba agattako nti mu kunoonyereza okwakolebwa mu 2010 ku bantu abaalwala ‘red eyes’ kwazuula nti abamu baakozesanga akakodyo k’omusajja okumalira mu ffeesi ya munne.

Abafumbo abakuze bwe baba bakozesa sitayiro ya misonale, omusajja talina kukozesa maanyi mangi engeri munne gy’aba takyalina nnyo maanyi.

Abakazi bwe bakaddiwa, baddamu ne bafunda mu bukyala, noolwekyo sitayiro y’omukazi okudda mu mitambo kiyinza okumukaluubiriza olw’obulumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...