TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abooluganda lwe bayingirira obufumbo ne babutta

Abooluganda lwe bayingirira obufumbo ne babutta

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2017

Buli wiikendi nyazaala wange ng’atukyalira n’ampa ebiragiro ku ngeri gye nnina okulabiriramu mutabani we.

614049467c0d6bbd22cbf242f2da7e89 703x422

OKUWABULWA n’okuweebwa amagezi mu bufumbo si kibi, wabula oluusi bwe kisukka kifuuka butwa.

Obufumbo bungi bwonoonese oluvannyuma lw’abeηηanda okubuyingiramu.

Eva Nakibuuka yagattibwa ne bba wabula nyazaala we n’abalemesa obufumbo.

Nakibuuka abinyumya bwati; “Twali mu mukwano era ekyavaamu kugattibwa ne tutandika obufumbo.

Buli wiikendi nyazaala wange ng’atukyalira n’ampa ebiragiro ku ngeri gye nnina okulabiriramu mutabani we.

Twasooka ne tuzimba amaka e Kazo wabula nga nyazaala wange ayagala mutabani we azimbe ennyumba endala e Nabweru okumpi n’amaka gaabwe asobole okulondoola engeri gye mulabiriramu.

E Kazo twamalayo emyaka etaano nga tuzadde n’abaana babiri wabula mu mwaka ogwomukaaga omwami wange yazimba e Nabweru okumpi ne maama we ekintu ekyasinga okutabula obufumbo bwaffe, okukkakkana nga twawukanye. Bwe twadda e Nabweru emirembe gyanzigwako.

Nyazaala yatandika okulingiriza buli kye tukola era nga n’emmere gye nfumbye nga y’asooka okugiryako kyokka nga tagisiima.

Buli lwe yagiryangako ng’annangira nti; Tekimanyi kufumba ekikazi kyo watomera ...!

Buli lunaku ng’afuna akasonga akamuyombya.

Ekyasinga okunnuma nga bw’atandika okuyomba nga n’omwami wange amwegattako olwo ne nfuuka ekisekererwa.

Bwe nalaba nemereddwa abaana ne mbaleka era obufumbo ne mbwesonyiwa. Ekinnuma be baana bange kuba ndwawo okubalaba.

Joyce Babirye naye yalemererwa obufumbo lwa baηηanda za bba okumuboola olw’eggwanga lye era annyonnyola bwati: Ndi mukyala Muganda wabula nafumbirwa omusajja Muteeso ne tugattibwa empeta mu kkanisa y’abalokole emu mu Kampala.

Twasisinkana Juba ne tusiimagana. Oluvannyuma lw’omwaka twakomawo mu Uganda ne twanjula ne tukola n’embaga.

Omwami wange bwe yantwala mu bazadde be baatusanyukira ne bandaga nti bansiimye.

Twakola emikolo gy’okwanjula n’embaga era bazadde bange n’ab’omwami emikono gyonna bagyebatamu n’essanyu.

Oluvannyuma lw’embaga, twafunamu obuzibu taata wange n’afa ne famire yange n’efuna okusoomoozebwa mu byensimbi.

Simanyi oba okwavuwala kwa famire yange kwe kwavaako abeηηanda z’omusajja okutandika okumboola n’okuntulugunya okutuusa bwe nalemwa obufumbo.

Omwami wange yali yazimba kumpi ne bakadde be, wabula ekiseera kyatuuka abantu be abawera nga munaana ne beeyiwa mu maka gaffe.

Nakkiriza okubeera nabo nga simanyi binaavaamu wabula bannemya obufumbo.

Buli omu ng’alina omuze gwe ate ne bagattako okunjogerera amafuukuule n’okunneenyinyala.

Baagattako okunvumanga mu lulimi lwabwe, okumboggolera n’okumpaayiriza bye sikoze mu maaso ga baze, obufumbo ne mbwesonyiwa.

Ate ye Muhammed Ddembe wadde akyali ne mukyala we mu maka naye ebizibu by’ayitamu olwa famire ya mukazi we okubayingirira bimumazeeko emirembe.

“Mukyala wange namufuna twagalana. Ffembi tukola naye ansinza ku ssente ate ne famire gy’avaamu ya maanyi. Kino mu kusooka saalowooza nti kiyinza okuleeta obuzibu, wabula ennaku zino baazingako amaka gange era kyenkana be bagafuga.

Buli kye nteesa maama w’abaana asooka kukiyitiramu nnyina ne baganda be olwo ne basalawo, ate tebawakanyizibwa.

Olaba n’essomero mwe twateeka abaana era omukadde omukazi ye yalisalwo, kyokka nga nze nnali siryagala.

Naye ku lw’obulungi bw’amaka gaffe nasalawo kusirika ne bakola bye baagala.”

DDI ABEηηANDA LWE BAFUUKA EKIZIBU ERI ABAFUMBO?

1.Abazadde bwe batandika okufaayo ennyo ku mwana waabwe ali mu bufumbo ne batuuka n’okulingiriza ebigulwa awaka.

2 Waliwo bamulamu abalina omuze gw’okutuuma amannya abaana ba bannyinaabwe. Jane Kisekka agamba nti buli lw’azaala taweebwa mukisa kutuuma baana mannya wadde ag’eddiini, balamu be be batuuma. Kino kyamuyisanga bubi era obufumbo n’abuvaamu.

3 Waliwo bamulamu abafunira bannyinaabwe abakazi abalala. Kino oluusi kiva ku mukyala awaka okulemererwa okuzaala, oba okuzaala abaana ab’ekikula ekimu. Olwo abeηηanda nga batandika okumusombera abawala b’aba azaalamu.

4 Nyazaala okwagala okubeera awamu ne mutabani we. Si kibi okubeera okumpi ne mutabani wo naye bw’aba asobola okukuteeka ewuwo kiba kirungi n’obeera eyo n’otojja mu maka gaabwe kubazimbirira kubanga bw’obabeera okumpi ebinyiiza tebibulawo.

5 Waliwo n’abeηηanda abasussa olugezigezi ne batuuka n’okwagala okutereka ssente z’abafumbo oba okubasalirawo bye baba bazikolamu. Kino kisobola okubeera ku ludda lw’omusajja oba olw’omukazi.

6 Abeηηanda abaagala okutwala abaana b’abafumbo babakulize ewaabwe. Kino kitabula abafumbo naddala okugeza omusajja bw’aba tayagala baana be kugenda nnyo bukojja olw’ensonga ze.

7 Okubuusabuusa obuzaale bw’abaana. Kino kisinga kuba ku ludda lwa musajja. Bamulamu abamu batuuka n’okubuusabuusa obuzaale bw’abaana ba muganda waabwe, era oluusi ekivaamu kubatwala kubakebera. Ebiseera ebisinga ekiva mu kino maka kufi ira ddala, kubanga omukazi atandika okubeekengera bonna, naddala ng’akitegedde.

8 Waliwo bannyazaala abaagala okwepima mu bak’abaana baabwe nga balwanira omukwano gw’omusajja. Maama aba alowooza nti y’asinza amaanyi kuba ye yazaala. Ow’ekika ekyo bw’asanga omukazi omukalubo, kizibu obutafuna njawukana.

9 Waliwo abeηηanda abasalawo okuyingira mu buli nsonga yonna mu bufumbo bw’abalala, ne batuuka n’okusalawo ku bye muteekeddwa okugula ne bye mulina okuleka.

10 Batijja n’abakazi abapya. Omusajja bw’afunayo omukazi omulala, olwo ng’abeηηanda batijja naye. Abamu batambuza olugambo okuva mu maka agamu okuluzza mu malala. Ebiseera ebisinga ekivaamu kuba kutabuka era omukyala bw’ataba mugumu ayinza okusibamu ebibye.

 ENSONGA ABEηηANDA ZE BALINA OKWETABAMU

  1. Ssenga Sarah Nalweyiso ow’e Kasubi agamba bwati: Nyazaala asobola okuyambako okuyigiriza mukamwana we emirimu egy’enjawulo naddala obukodyo bw’okufumba emmere ssinga azuula nga tamanyi wabula ne bwaba amanyi asobola okumuyigiriza ne yeeyongera okumanya. Kino kiyamba okwongeera okunyweza obufumbo.
  2. Bamulamu basobola okuyambako mulamu waabwe okumubuulira embeera z’omwami we n’ayongera okumanya omwami we by’ayagala ne by’atayagala.
  3. Abeηηanda basobola okuyingirawo ssinga wabaawo obutakkaanya wakati w’abaagalana.
  4. Basobola okumuyambako mu kujjanjaba omukyala ng’azadde ne bwaba mulwadde.
  5. Okutuuma amannya g’ekika nagwo mulimu gw’abeηηanda z’omusajja.
  6. Mu biseera nga waliwo emikolo egy’enjawulo abeηηanda balina okukolera awamu okuyambagana
  7. Ssinga wabaawo obuzibu mu byensimbi abeηηanda basobola okuyambako mu kuweerera abaana n’okulabirira omukyala.

Alex Kigongo abuulirira abafumbo agamba nti Bayibuli etugamba okukolagana n’abeηηanda zaffe naye era n’abantu abalala nga tetunnaba kufumbirwa oba nga tufumbiddwa, naye kino kisaana okubaako we kikoma.

Kirungi bwe muba mufumbiddwa ne muba nga mukolagana wamu n’abeηηanda zammwe okugeza mu kusaba musobola okusabanga awamu, era tekigaana omukazi ng’alina obuzibu okubuulirako mulamu we oba nyazaalawe ne basobola okusabira awamu Mukama n’akola.

Abaana bwe baba bakuze, era nga batandise okutegeera si kibi okubatwalako ewaabwe mu kika oba ewa bajjajja kubanga abazadde b’ennaku zino oluusi tebafuna budde bubuulirira baana baabwe naye bwe muba n’enkolagana nga famire osobola okuweereza abaana ewa ssenga waabwe, taata waabwe omuto, jjajja waabwe kojja oba maama waabwe omuto bwe baba nga beeyisa bulungi era ng’olaba basobola okuyigiriza abaana bo empisa.

Abafumbo kirungi okukolagana n’eηηanda kuba kiyamba abaana okufuna ekyokulabirako ekirungi era n’akula ng’akolagana n’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.