TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omusajja gy’anoonya munne n’anyumirwa laavu

Engeri omusajja gy’anoonya munne n’anyumirwa laavu

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2017

Omusajja ne bw’aba ne ssente ezenkana wa, naye ng’ensonga z’ekisenge tazitegeera, mukyala we tayinza kumubala nga musajja atuukiridde.

Abaagalana1 703x422

Abaagalana mu biseera bye eby’eddembe.

OMUSAJJA omutuufu omumanyira mu kisenge. Omusajja ne bw’aba ne ssente ezenkana wa, naye ng’ensonga z’ekisenge tazitegeera, mukyala we tayinza kumubala nga musajja atuukiridde.

Ekisinga okulemesa abasajja okusanyusa abaagalwa baabwe mu kisenge kwe kulemwa okubanoonya mu bifo ebituufu, n’okumala gazannya mupiira nga tebagenderedde bifo ebikulu ebicamula omukazi.

OBUKODYO BW’OKUNOONYA

1 Sooka omukuηηaanye ebirowoozo. Abakyala baba n’ebirowoozo ebibataataaganya obwongo. Eno y’ensonga lwaki olina okusooka okumukuηηaanya ebirowoozo nga munyumya emboozi ekwatagana ku byokwegatta wamu n’okumuwaana.

2 Mulage nti oyagala ebyokwegatta. Kozesa omubiri gwo ng’amaaso, emimwa n’emikono ng’omuweeweeta afune obwagazi.

3 Ebitundu ng’amatu, obulago, amabeere ne mu kiwato byonna biyamba okusumulula obusimu.

4 Okunywegera nsonga nkulu nga temunneegatta ne bwe mutandika okwegatta. Bw’oba oyagala omukazi okufuna obwagazi bwo munywegere awulire obugigi kubanga buli lw’afuna obwagazi n’ebitundu by’omubiri gwe bisumulukuka.

5 Obukyala nabwo tobusuulirira kubanga wano we wasinga okuva obwagazi obw’amaanyi era buli mukyala yenna bw’omukwatirira mu bukyala bwe afuna obwagazi obw’ensusso; Obwagazi bw’omukazi obusinga busibuka mu bukyala era omusajja osobola okunoonya omukyala ng’omuweeweeta mu bukyala bwe n’amatira era n’akutongoza mu basajja bonna nti ggwe asinga mu nsonga z’omukwano.

OBUKYALA BULINA EBISENGE

6 Obukyala bulimu ebisenge 6 era omusajja olina okufuba okulaba ng’otuuka mu buli kisenge okusobola okusumulula obwagazi bw’omukyala obwa ddala.

Abakyala balina enzigi z’obukyala (abalongo). Abalongo bano bakola kya maanyi mu kuleeta obwagazi ka babe bawanvu oba batonotono era omusajja olina okubasikako mpola nga bw’obaweeweetako.

Kino okikola ng’otandikira ku balongo ng’ova ku kkono kubanga oludda olwo lwe lusinga okubaako obwagazi, okusinga ku lwa ddyo. Wakati w’abalongo ku kakukufa okusibuka abalongo nako kakulu ddala. Kano kayiseeko obusajja ng’ova wansi n’ozza waggulu, ku kkono ne ku ddyo mu ngeri y’akasaalaba.

Wansi okubaayo emirundi 3 n’odda waggulu n’okubaayo emirundu 6, ku kkono ne ku ddyo emirundi

4. Kino kireetera omukazi okwesika, okunyumirwa n’okwongera okufuna obwagazi. Wano abakyala abasinga we basingira okufuna obwagazi era wano abakyala abasinga we basumululira ag’emugga, wabula kino tekitegeeza nti bwe gajja olina okuyingira munda, wabula kisinziira ku ngeri mwembi gye muba muwuliramu.

Oyinza n’okumugwa ebbakuli bw’eba nga y’enkola yammwe. Abakazi kano akakodyo bakaagala kuba olulimi lubuguma era lugonda nnyo okusinga olugalo ekyongera omukazi okufuna obwagazi. Abakazi abakyala 60 ku 100 wano we batuukira ku ntikko.

EMITENDERA GY’AKABOOZI

Bwe mutandikira ddala akaboozi, weewale okutuukira ddala munda. Sooka okome awo ku mugguukiriro, wabula ng’osooka kukuba ku ludda lwa kkono olwo n’odda ku ddyo, tuukako wansi mpolampola ne waggulu.

Bw’omaliriza guno omutendera, olwo tandika okukoona waggulu ne wansi ng’oyongezza ku sipiidi, era ng’okozesa mu maanyi amatonotono munno asobole okukuwulira nti waliwo ekigenda mu maaso.

Kino bw’onookikola obulungi ojja kulaba ng’omutadde ku bunkenke era kino ojja kukimanyira ku ngeri gy’anaaba akyusizzaamu oluyimba lw’eggwanga, ng’atambulira ku sipiidi yo.

Mu kiseera kino ajja kutandika okukusaba weeyongereko munda, wabula sooka olindeko okikole mu ngeri y’okumukanga ng’abadde takyetegekedde.

Mu kumuganga oteekeddwa obusajja okubutuusa ku kisenge ekyawula nnabaana n’obukyala, era bw’onookoonawo ajja kulaba nga yeekanga kuba bw’okoonawo wabeera wamuluma ate nga bwe wawoomerera, era ekinaavaamu kwongera kusumulula ag’emugga n’obwagazi okweyongera, era bw’aba mukugu mu kunyeenya ekiwato ajja kukikunyeenyeza mu ngeri y’okukwebaza era onyumirwe.

Mulage nti omwagala kubanga ekyo ky’olina kyokka, ebirala byonna abeera akusinga era olina okukikwasa n’amaanyi.

Weerabirire bulungi, wadde tosobola kumwenkana naye faayo nnyo okwekolako ng’omwa ekirevu, osala akaviiri akanyuma osobole okumufaanana. Muwe ekitiibwa naye tomutya nnyo kino kijja kumulaga nti oli muntu mulungi.

Kimulage oba kimugambe nti omwagala kubanga ne bw’onookola ebikulu naye nga tomugambye ayinza obutakwagala kubanga ajja kuba takitegedde nti omwagala, era tajja kukutwala nga kikulu mu bulamu bwe.

OKWEFAAKO N’OKWAMBALA

Nze Nicholas Kyazze mbeera Ntinda nnina emyaka 25 nga nsoma mu yunivasite emu mu Kampala. Nnina omukyala owebbeeyi gwe naganza gye buvuddeko era laavu yaffe etambula bulungi.

Ewuwe nagendayo kumukanikira ku firiigi ye ne mwegomba, wabula nga ntya okumugamba kuba nga ndaba wa bbeeyi nnene.

Mu kiseera ekyo nnali mu luwummula lwa S6 ate nga ye mufumbo, akola era nga yeevuga.

Bwe namaliriza okumukanikira nasigaza ennamba y’essimu ye era ne musaba okunkubirangako buli ekyuma lwe kifa.

Nagendanga ku mulimu gwe ne musaba muyambengako ku mirimu emitonotono ekyayongera okumufuula mukwano gwange.

Omukyala ono namwagala kubanga yali anyirira wadde nga mukulu mu myaka, ng’ayambala bulungi ate ng’alina ne ku ssente, kyokka bwe twanyumyanga naye ng’agamba nga bw’asubwa ebya laavu kuba bba akolera Bulaaya.

Nange okwongera okumuwangula, nga nfuba okumulaga omukwano, neekolako ku lususu, okuba mukwano gwange, nga mufaako nnyo kubanga lumu yafuna akabenje ne nsula mu ddwaaliro naye okumala wiiki bbiri era olwava mu ddwaaliro namwatulira nga bwe nnali mwagala mu kumutya ennyo kyokka kyanneewuunyisa bwe yahhamba nti naye anjagala.

Twatandika okutegeeragana ennyo era kati ebbanga lye mmaze ku yunivasite yampeerera era tuli bulungi, antwalira ddala nga mwami we era nange mwagala nnyo wadde ansinga obukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...