TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nejjusa ekyanzirusa mu ssomero ne mpaala n’omusajja

Nejjusa ekyanzirusa mu ssomero ne mpaala n’omusajja

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2017

BANNANGE nze ku kyendozezzaako, omuntu kyandibadde kirungi okukozesa obulungi omukisa ogubeera gukuweereddwa n’olemwa okwejjusa mu dda ng’omukisa tegukyasoboka kuddizibwawo. Nze Zahara Namutamba nga nnina emyaka 21.

Teba 703x422

Nasisinkana ne baze bwe nali nkyasoma mu P6. Bannange omusajja ono bwe yankwana namwagala nnyo engeri gye nali omuto nga ndaba andaga laavu era nange ne mmuwa omutima gwange gwonna. Wabula ebiseera ebyo nali mbeera ne bazadde bange.

Naye engeri gye twali mu mukwano omuyitirivu omusajja yansaba tutandike okubeera ffenna era ekyo bwe nakiwulira ate omukwano ne gweyongerera ddala kubanga nayongera okukakasa nti ddala anjagala.

Bannange okumanya omukwano gwaziba nze amaaso, natuuka n’okwerabira nti nali nkyasoma ne tutandika okupanga n’omusajja engeri gye ng’enda kuvaangamu awaka.

Tuba tukya mu ebyo neekanga ndi lubuto era mu busiru awaka saasiibula na kusiibula. Nakwatamu ebyanguwa ne nsibira wa lulenzi era nasanga anindiridde.

Olwayingira ennyumba omusajja yajula okufa essanyu ne simanya nti ekiseera kirituuka ate ne nzira mu maziga. Twatandika okupangisa e Gayaza nga gye tubeera ffembi olwo nga n’eby’abazadde sikyafaayo kumanya.

Mu kiseera ekyo nali ntegeera omuntu omu yekka. Bwe nnasumulukuka nazaala omwana wa bulenzi ate olwo essanyu ne litweyongera.

Nga wayise akaseera saamanya sitaani gye yabaguka kuba omusajja gwe nayagala ennyo bwentyo n’atuuka n’okunzirusa mu ssomero, simanyi kyamuleetera kunkyawa nga ne bw’antunulako ng’alinga asinduukirirwa emmeeme.

Yatuusa ekiseera nga takyalina buyambi bwonna bwampa ate nga nze nali sikola nga ntuula waka.

Ensi yanyiga nze nga siraba na wa kwewogoma kubanga nakubangamu akafaananyi okuddayo mu bazadde nga kizibu kuba baali banyiivu olwa fi izi ze nnali nyonoonye olwo amaziga ne gajja.

Ekiseera kyatuuka nga ndaba mbonyebonye ekimala ate nga n’omusajja ansindiikiriza kwe kusalawo okusiba omutima nzire awaka kyokka bazadde bange tebaakisanyukira olw’engeri gye nnali nneefumbizza nga nkyasoma.

Nkubiriza abawala abakyalina Jamila Nankwanga: Muwala wange oyo obwenzi bwe bwamulemesa obufumbo kubanga buli amugambako alowooza nti amwagala olwo n’atabaala naye amala kutuuka eyo ne bimwefuukira n’akomawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba