TOP

Bannange nsobeddwa ekyokukola

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

NDI mukyala mulungi ddala naye ndi nnamba bbiri era kinnuma. Omwami wange si Musiraamu. Bwe nali mmufuna saamanya nti mufumbo nakitegeera mmaze okuzaala abaana basatu era nga n’okwanjula kuwedde. Mukyala mukulu yali abeera bweru naye kati yakomawo. Ssenga nkole ntya?

Ssenga1 703x422

Mwana wange walaba nnyo omwami ono okukulimba kubanga obulimba bwe buti busobola okuleeta obutemu.

Kati watya nga mukyala mukulu akitutte bubi n’akukola obubi?

Mwana wange okufumba ne mukazi munno si kyangu. Ekibi abasajja bangi balowooza nti kyangu era ffe abakyala tulina okukigumira.

Okusookera ddala oba oyagala omusajja ono, olina okukkiriza nti oli mukyala nnamba bbiri.

Sigaanyi waliyo abasajja abamanyi okulabirira abakyala baabwe era ng’oluusi kizibu n’okumanya nti muli bangi.

Kale omusajja bw’aba alina embeera ezo ennungi ng’akulaga omukwano ate nga tolina buzibu bw’amaanyi gumiikiriza.

Ekirala mwana wange ozadde abaana basatu. Lwaki tokuza baana bo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

So1 220x290

Maama togwa mu luwombo!

Maama togwa mu luwombo!

Rib2 220x290

Afande munsiba naye ntamidde

Afande munsiba naye ntamidde

Yap2 220x290

Akola n’omwagalwa we ku mulimu...

Akola n’omwagalwa we ku mulimu mukole bino muleme kutabuka

Lob2 220x290

By’olina okukola munno abadde akubuusabuusa...

By’olina okukola munno abadde akubuusabuusa addemu okukwesiga

Ai1 220x290

Omukazi bw’atiribira kyongera omusajja...

Omukazi bw’atiribira kyongera omusajja okusuukiira olwo ne zidda okunywa