TOP

Naganza omusezi nga simanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

Nze Geoffrey Ssemaganda 25, mbeera Mukono. Bwe najja e Mukono okukola omulimu gw’okutema ennyama gye nasisinkanira omuwala ono eyali omulungi okuzaama.

Mwana 703x422

Namwegoba era ne ntandika okumwogereza okumala akaseera n’anzikiriza wadde nga nnali mwavu ate ng’ewaabwe bali bulungi mu byensimbi.

Etandikwa y’omukwano gwaffe yali nnungi kubanga omuwala ono yanjagala nnyo n’atuuka n’okunkolera bizinensi eyange ekintu ekyansanyusa ne nsalawo mutwale ewaffe e Masaka alabe ku bakadde bange.

Bwe nnamutwala maama teyamusiima era yahhamba nti sigeza ne muwasa.

Nagezaako okumunnyonnyola ne mubuulira ebintu omuwala oyo bye yali ankoledde wabula maama yagaana okumpuliriza era n’ahhamba nti wadde yali ankoledde ebyo byonna teyali musanyufu era ne twawukana.

Bwe nakomawo e Mukono nanyumiza mukwano gwange wabula yaseka busesi nga bw’ambuuza oba sikimanyi nti omuwala oyo ewaabwe basezi.

Kino nakiwakanya era ne mmanya nti mukwano gwange yali tanjagaliza.

Wabula lumu nnali ku mulimu omukyala n’ajja okugula ennyama wabula bwe yali akyayimiridde omukyala omulala yajja n’amugamba nti lwaki ogula awo ennyama lumu oligula ennyama y’omuntu.

Kino kyantiisa ne ntandika okunoonyereza ku muwala ono.

Lumu yajja n’asula ewange, olw’okuba nnali mwekengera nasula ntunula era bwe zaawera ssaawa 9:00 ez’ekiro ne mpulira ng’asituka ne yeeyambula engoye ze yali asuzeemu n’afuluma wabweru n’atandika okudduka.

Bannange nnatya ne ntuuka n’okufuuyisa mu mpale kubanga nnali sikikkiriza nti mukyala wange asobola okuba omusezi.

Nayita muliraanwa ne munnyonnyola, wabula n’antegeeza nti hhume omukyala tumulinde akomewo wabula teyadda ng’alinga akitegedde nti tumuguddemu.

Ku makya namukubira essimu ne mubuuza lwaki yatambudde ekiro n’atahhamba wabula yantegeeza nti taata we yabadde mulwadde kyokka nga tayagala kuntawaanya kwe kugenda nga tahhambye.

Okuva kw’olwo namukyawa naye anneegayirira ayagala tuddihhane. Nkole ntya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini