TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kola bino munno abeere mwerufu gy’oli

Kola bino munno abeere mwerufu gy’oli

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2017

ABAAGALANA nga tebannafumbiriganwa batera okukweka ebyama bingi nga tebaagala baagalwa baabwe babimanye era nga kino kiva ku nsonga nnyingi naddala ku ludda lw’abasajja nga batya okubakyawa n’oluusi okubalangira naddala nga baawukanye.

Yogo1 703x422

Bano baali beekuba akaama. Munyumirwa ssinga uli omu abeera mwerufu eri munne.

Wabula ate obwerufu mu mukwano bwetaagisa kuba y’emu ku mpagi ewangaaza omukwano wadde ng’abamu tebakitwala nga nsonga.

Zino ze zimu ku ngeri omuntu z’ayinza okukola omwagalwa we n’atandika okubeera omwerufu gy’ali era n’amwesigira ddala n’atuuka n’okumugamba ebimu ku byama bye. Kino kiyamba enkolagana yaabwe okutambula obulungi.

1 Beera mugumiikiriza. Ng’olina omwagalwa, olina okuyiga okukwataganya mu ngeri gy’alowoozaamu ne gy’otambuzaamu obulamu bwe.

Ebiseera ebimu omuntu aba ayagala eddembe n’obutaleekaana n’okubeera naawe nga teyetadde mu kiti ekirala oba okumuwa obudde bwe n’akola ebintu bye ebirala era bw’ogezaako okuleeta emboozi mu budde bwe yeetaaga okuba yekka oluusi kimunyiiza oba okumumalako emirembe. Wabula bw’omugumiikiriza mu buli kimu n’okiwa obudde bwakyo obutuufu, ajja kukwesiga.

2 Okwewa ekitiibwa Mu bulamu teri muntu atayagala kumuwa kitiibwa naddala abasajja naye nga n’omusajja okuwa omukyala ekitiibwa kiba kyetaagisa. Kiba kirungi abaagalana okwewa ekitiibwa, kino kireetera omwagalwa wo okukubuulira buli kimu kuba aba akwesiga nti ali n’omuntu omutuufu kuba omussaamu ekitiibwa.

3 Tolamula nnyo. Omuntu bw’olamula ennyo omwagalwa wo kimumalako emirembe. Kiba kirungi n’otamusuubiriza. Toteeka birowoozo byo ku z’osuubira okubeera ensobi z’akola.

Toyinza kumulamula buli kiseera n’osuubira nti anaakugamba ebyama bye oba amazima anti aba amanyi nti ne bw’anaakubuulira ekituufu ojja kulowooza nti akulimba bwatyo n’asalawo okukulimbira ddala. Omwagalwa wo aba ayagala okuwulira ng’oli mumativu ng’akubuulira buli kimu oba kibi oba kirungi.

4 Okumanya enkola emwanguyira ng’ayogera naawe. Olumu oyinza okubeera n’omwagalwa nga tasobola kwetottolako ng’akutunulako naye nga bw’aba akusindikira obubaka kimwanguyira.

Olina okukimanya era okukigumira naawe n’okozesa ekyo. Awo aba asobola okukubuulira ku kimuluma kuba bw’aba ali naawe aba atya okubikubuulira.

5 Okumuyambako Omwagalwa wo bw’omulaga okumala ebbanga nti omuyambako naddala ng’ali mu buzibu, nakyo kimuyamba okuwulira ng’alina obukuumi obumala okukubuulirako ku bizibu bye kuba omuntu yenna aba yeetaaga omuntu amuyamba.

6 Beera mwerufu gy’ali. Bw’otegeeza munno buli ky’oba ogenda okukola ne gy’ogenda nga tomwekwekeredde, akwenyumirizaamu nti ddala alina omuntu omutuufu kuba tomukweka. Olwo naye ajja kuba atandika okukubuulira gy’aba agenda kuba naawe omubuulira.

7 Okumuwa obudde Omuntu wo bw’omuwa obudde otandika okumanya ky’obadde tomumanyiko era naye n’akwewa ng’akubuulira ne ku bimuluma n’okutegeeza buli kimu ekimukwatako kubanga buli kadde akamala naawe era awo w’ava n’akubuulira n’ekyamuluma edda.

8 Okukola by’ayagala Omuntu yenna w’omukolera ky’ayagala naye atandika okukwesiga kuba aba akubalirako mu buli kimu bwotyo bw’obeera n’omwagalwa n’omukolera by’ayagala naye atandika okukubuulira ku bimunyiiza n’ebimusanyusa era wamu n’ebyo ebimuluma kyava akwesigira ddala n’atandika okubuulira buli kimu.

9 Okumanya omwagalwa wo Okumanya omuntu gw’oli naye mu mukwano kiyamba nnyo kuba oba omutegera mu buli mbeera nga naye kimusanyusa era ng’asobola okukubuulira buli kimuliko era na buli kimugwako aba akikugamba kuba aba akimanyi omutegeera mu buli mbeera.

10 Obutabuuliririza Bw’obeera n’omwagalwa wo, tomubuuliriza nnyo era tomulondoola wabula omulaga nti omwesiga era naye atandika okukwesiga. Tomubeerako kumumalako mirembe ate nga n’ebikolwa byo biraga nti omwesiga, awo naye atandika okukubuulira ku byama bye.

11 Okukola eby’enjawulo Abawala ennaku zino tebakyayagala kukola mirimu naddala nga batuuse mu maka ga baganzi baabwe. Bwe batuuka bafuuka bagenyi naye omusajja bw’omulaga nti oli wanjawulo mu bawala abalala n’okola emirimu oba okumuyonja, kimusanyusa olwo naye n’atandika okubeera omwerufu gy’oli.

Kansala Edith Mukisa agamba omuntu okukubuulira ekyama kye y’asalawo. Wabula okulimba kuli ku njuyi zombi. Omuntu okutandika okukubuulira ku byama bye naawe oba olina okubeera omwerufu gyali.

Mukisa agamba nti omuntu gy’okoma okubeera omwerufu eri munne naye atandika okubeera omwerufu gy’oli naye kino kiva ku ngeri omuntu gye yakuzibwamu, muyinza okubeeramu omuntu nga ye yakuzibwa mulimba era ono ne bw’olikola otya, aba aba talikubuulira mazima gamukwatako.

Ayongerako nti omuntu olina okuba omuwuliriza okusinga okwogera, mu kuwuliriza, kikuyamba okusengejja mu bigambo omwagalwa wo by’akugamba awo oleme kutambulira ku bulimba oba mu bulimba.

Wabula bw’oba oyagala omwagalwa wo okukubuulira buli kimu naawe olina okuba omwerufu gy’ali ng’omubuulira buli kimu.

Buli muntu alimba naye waliwo okusukka nga kino oluusi kiva ku butekkiririzaamu ate ng’olimbye oba olina okukozesa amaanyi okukuuma ky’olimbye nga tokisaabuludde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...