TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Bobi Wine bw’aba omusanyufu ng’ebyange biwedde!’

‘Bobi Wine bw’aba omusanyufu ng’ebyange biwedde!’

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2017

NNANSI Eva azannyira mu kibiina kya Ebonies. Azannya mu muzannyo OMG (Oh My God) ogulagibwa ku Bukedde TV. Ag’obuzaale ye Evelyn Namulondo.

Bobi 703x422

Abeera Bbunga naye nzaalwa y’e Mukono - Kisoga. Yava mu nda y’omugenzi Rose Nakanwagi n’entumbwe za Daniel Ssekiranda ow’e Masajja.

Yasomera St. Peter’s Nsambya, Seven Hills Lubaga ne Caltec Academy Makerere gye yamalira S6.

Agamba nti, omwaka guno ateekateeka kweyongerayo ku yunivasite asome amateeka.

Azannye emizannyo egiwerako omuli; ‘Galebera’ ng’omuyizi, ‘Yongera ologe’ nga Nnansi Evelyn, OMG nga Nnansi Evelyn, ‘Enslaved by Love’ ng’omuwala omubi ennyo mu muzannyo, ‘Music Tantal’ ng’omuzinyi ate nga muyimbi, n’emirala.

“Mu OMG, nzannya ne Dr. Gordon gye nagenda okufuna omulimu kyokka ne mmwegwanyiza.

Ekibi, yagaana okuηηanza era tanjagalira ddala. Era nze musawo ajingirira amabaluwa g’abalwadde.

Lumu twajingirira ebbaluwa eraga nti Sarah ali lubuto era nze nakubya Dr. Gordon empi ng’abalwadde bacankalanye,” Namulondo bw’agamba.

Wabula ekyebuuzibwa, Nansi ono embeera zino ez’emivuyo alizikomya ddi? Ebisingawo ku muwala ono, bisange ku Bukedde TV.

Agamba nti, Ritah Tusuubira eyazanyanga nga Olga mu ‘Bibaawo’ omuzannyo gwa ba Ebonies ye yamusikiriza okwesogga ekisaawe ky’okuzannya emizannyo.

Agamba nti alina ne ssengaawe eyali omuzannyi wa katemba ate ne mu pulayimale yazannyanga emizannyo ku ssomero.

Ku nsonga z’omukwano, agamba nti alina omwagalwa n’omwana omu ow’obulenzi.

Agamba nti ekisinga okumuwa essanyu ku nsi, kwe kulaba nga bassereebub’asinga okwagala bali bulungi era nga beeyagala. Asinga kwagala Bobi Wine, Juliana ne Kenzo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’