TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebiriisa abaami mu kyalo eka ne bazza mukkutto

Ebiriisa abaami mu kyalo eka ne bazza mukkutto

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2017

TERI kiruma mukazi ng’okufumba emmere bba n’agisimbamu wuuma n’agireka awo.

Kyalo1 703x422

Omusajja ng’alya emmere awaka wabula nga tagitaddeeko birowoozo. Abasajja abamu awaka baleeta mukkuto nga bamaze okulya bye baagala.

TERI kiruma mukazi ng’okufumba emmere bba n’agisimbamu wuuma n’agireka awo.

Kino abasajja bangi bakimanyi era bangi bwe buwungeera afuba obutalya asobole okulya emmere ya maama w’abaana gy’afumbye.

Wabula ensangi zino waliwo abasajja abagaana okulya naddala ekyeggulo nga beekwasa amateeka g’abasawo naddala ‘Dr. Ssali’; gwe bagamba nti yabagaana okulya emmere nga banaatera okwebaka.

Wabula bangi kino bakikozesa nga kyekwaso   naye nga baba tebaagala Yasin Ssewankambo ebiremesa abasajja okulya ekyeggulo mulimu;

 mukyala ngafumba luusi abasajja bazira emmere yawaka ne balya mu kyalo Omukyala ng’afumba. Oluusi abasajja bazira emmere y’awaka ne balya mu kyalo.

 

1 Waliwo ababeera n’amaka ag’enjawulo ate nga bonna ayagala okubasanyusa, olwo gy’annyukira amupakira ebyokulya n’atuuka gy’anaasula ng’abwegedde n’atalya.

2 Waliwo abalina ebikoosi era olunnyuka nga bagenda mu bifo gye batunda emmamba, embizzi, empuuta, ekigere ne kalonda omulala. We baddira awaka nga bakkuse era kizibu okulya ekyeggulo.

3 Oluusi enfumba y’abakazi embi y’ewaliriza abasajja okweyiiya ne balya ebibawoomera. Ab’ekika kino boosanga mu tonninnyira ne wooteeri ku ssaawa 12:00 akawungeezi nga bannyuse nga balya ng’abagenda safaali kyokka nga badda waka.

4 Obutabeera na mirembe waka nakyo kireetera abasajja okusookera mu ttonninnyira anti olumu omukazi amujjulira anyiize, atolotooma, amulangira n’ebintu ebirala ebiyinza okumunyiiza n’asalawo obutalya waka.

5 Abakyala abamu bessaamu obunafu n’atuuka okugamba omusajja ajje ng’alidde. Omusajja gwe bagambye kino ne bwe luba lwa lumu ayinza okukikwata n’asalawo okudda awaka ng’alidde.

6 Ayongerako nti embeera y’abakyala gye beeyisaamu olumu egoba abasajja okulya omuli obucaafu obuyitiridde. Okugeza omusajja n’asanga ng’awali ebbaafu ate omukyala w’ajjulira emmere, enjala zirimu ekko, olugoye lw’asiibyemu lw’ajjuliddemu emmere n’ebirala bitta apetayiti omusajja n’akyawa okulya awaka.

7 Abakyala balemererwa okuyiiya n’okumanya abasajja baabwe bye baagala oba ebibawoomera. Omusajja obutayagala kukaayana na mukyala ku bya mmere asalawo okulya mu woteeri, olwo awaka n’alya kutuusa mukolo.

 

ABASAJJA ABATALYA WAKA BYE BEEKWASA

  • Abamu bw’amanya nti tagenda kulya yeeyombya ng’emmere bw’eruddewo era bino abimalayo nga yeebisse dda mu buliri, olwo omukazi n’alowooza nti osanga nsobi ye okulwawo okujjula so nga gaba magezi ga musajja aleme kulya waka, kuba abeera alina gy’ayitidde ng’akkuse.
  • Waliwo abeekwasa okusiika ennyo enva nga bw’agamba nti ye yakula alya boyiro.
  • Waliwo abeerwaza olubuto ne bagaana okulya nga bawoza nti bw’anaagattamu emmere lujja kwongera okumuluma.
  • Abamu baleka ssente entono nga bakigenderedde nti bajja kukomawo nga bakkuse era bw’atuuka nga yeegambisa abaana babawe emmere bakkute bw’eba temala n’eyiye bagibawe baleme kusigala nga bawankawanka.  
  • Abandi bagamba nga bwe balina mukozi munnaabwe abatutteko awutu ne babwegera, olwo awaka talya kyaggulo.

Wabula Ssewankambo awadde abakyala amagezi bakole bino wammanga okusendasenda abasajja bakomye okulya mu kyalo.  

 

1.Abakyala bafube okwagaza abasajja awaka nga bayonjaawo kuba abasajja bettanira ebiyonjo.

2.Omukyala olina okuyiga ebiwoomera omusajja wo era ebimuwa amaanyi asobole okulya emmere y’awaka so si kufumba abaana bye basinga okwagala.

3. Omukyala ateekakasa by’afumba asobola okwenyigira mu misomo egiyigiriza okufumba n’ayongera okukuguka. Waliwo ne pulogulaamu ku ttivvi eziyigiriza okufumba z’osobola okwettanira.

4. Balina okwongera okuyiiya obuntu obutonotono ku mmere ng’enva endiirwa ate n’obutafumbisa nnyo butto ayitiridde kuba abasajja tebamwagala.

5. Akubiriza abazadde okutendeka bawala baabwe okufumba nga bakyabalinako obuvunaanyizibwa nga bwe kyabanga.

6 Abakyala bayige okujjulira abaami baabwe n’essanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo