TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnejjusa olunaku lwe nakkiriza dokita

Nnejjusa olunaku lwe nakkiriza dokita

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2017

NZE Rose Nabunnya, mbeera Wakiso. Bwe nnali e Kampala nateranga okugendako e Mulago mu ddwaaliro buli lwe nalwalanga era eno gye nasanga dokita omumanyifu ennyo.

Yap 703x422

Nabunnya

Mu kunkwana saalwawo nnyo kumukkiriza engeri gye nnali mumanyi nga ntera okumulaba mu ddwaaliro ate ng’anzijanjaba bulungi buli lwe nalwalanga.

Twamala ebbanga lya myezi mukaaga mu mukwano ne nfuna olubuto era n’asalawo n’ampangisiza enju eno e Kasanje gyendi.

Mu kusooka dokita yandaga omukwano gwennyini, nga nfaako nnyo nga tewali kyenjula anti buli kyenayoyanga ng’akimpa engeri gye yalina ssente.

Ate twali tuli awo mu bwangu ne nfuna olubuto olw’omwana wange owookubiri era nga dokita wange buli kimu akikolako. Ng’ampeereza ssente z’emmere ne lwatasuzeewo nga andekerawo ez’okwekuumisa.

Nze saafaayo nnyo kumulemera ko ennaku zaatasulanga waka anti yaηηamba nti oluusi yasulanga mu ddwaaliro ng’alina okukola ekiro kale saakirabamu buzibu bwonna.

Bwenafuna olubuto olwokusatu omwami wange yakyuka era ng’alwawo n’okudda awaka, nga ne wiiki agimala tayiseeyo.

Olwamubuuza yanziramu kimu nti yali afunye omukazi omulala era nti ngume lw’abeera talabiseeko abeera eyo. Kyokka okugenda okubiwulira ng’alina n’omukyala asooka nga nze ndi wakubiri kati yali afunyeeyo owookusatu.

Bwe nakitegeera nti alina abakazi abalala babiri kyannuma nnyo kubanga nze nnali sikyagalangako kulumba mukazi yenna mu makaage naye engeri gyennali saakimanya ate nga nkitegedde nnina abaana be basatu naguma bugumi ne nfumba.

Olwafuna omukazi owokusatu ate nze yampisiza ddala bubi kubanga omukwano gwonna yaguzza wuwe wamu n’ewomukyala omukulu nze eyali mu makkati yandekerera.

Namusaba antandikirewo kabizinensi ng’edduuka nange nsobole okwerabirira kubanga nnali nkimanyi nti ssente naye yagaana.

Nga mmaze okumuzaalamu omwana wange owookuna musawo yalwala endwadde ey’amaanyi n’abeera ku ndiri okumala ebbanga ne bamutwala n’ebweru w’eggwanga kumujjanjaba naye nga embeera yeeyongera bweyongezi kutabuka era omwaka oguwedde n’afa.

Nga tannafa abakazi be bali abalala yaleka abawadde eby’obugagga bingi era omukulu yamuwa amaka, emizigo gy’abapangisa, emmotoka n’ettaka.

Omuto yamuwa amaka naye nga matono ko ku g’omukulu, puloti wamu ne kamunye, kyokka nze eyali owookubiri tewali kye yampa.

Dokita yagenda n’okufa nga takyalabirira baana bange be namuzaalamu, ebyembi ku baana be nazaala ababiri baafa ne sigazaako babiri.

Mu lumbe lwa bbaffe baggya bange bajja banyirira nga balabika ssente naye nga nze nkulubuse anti yali yakoma dda okundabirirra nga tamanya nakiki kyendidde n’abaana bange .

Omwezi ogujja tugenda kumwabiza lumbe naye sirina kyamaanyi kye nsuubirayo kubanga n’abamu ku baganda be bannumba ne baηηamba nga bwe batagenda kumpa ku bintu bya mugenzi kubanga nze tebammanyi era mwannyina omu n’aηηamba nti “Olaba ye bbawo eyali akumanyi yafa takutadde mu kiraamo wadde okukuwaayo akantu ate ffe abatakuwulirangako? Kyankuba wala nnyo era nze n’essuubi lye nnali nina ne linzigwamu, kati mbonaabona ninga atayagala ko musajja mugagga bwatyo.

Nejjusa lwaki namusisinkana okuntuusa ku kino kubanga ekisooka yannimba nga bw’atali mufumbo, ekyokubiri nanyongerako omukazi owookusatu ate n’afa nga talina kyandekedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...