TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensobi z’abasajja eziremesa abakazi okuweza ag’emugga

Ensobi z’abasajja eziremesa abakazi okuweza ag’emugga

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2017

ABAKUGU mu by’omukwano n’okwegatta bagamba nti buli mukazi atondebwa ng’alina ag’emugga, wadde ng’abamu baba na ga lusuluuju ate abalala baba na nnyanja. Wabula kye bakakasa kiri nti teri mukazi nnabukalu.

Happylove1 703x422

Abaagalana nga ball mu mukwano omuzito mu biseera byabwe eby’eddembe. Omukyala okusumulukuka ateekeddwa okuba n’eborowoozo ebitebenkedde.

ABAKUGU mu by’omukwano n’okwegatta bagamba nti buli mukazi atondebwa ng’alina ag’emugga, wadde ng’abamu baba na ga lusuluuju ate abalala baba na nnyanja. Wabula kye bakakasa kiri nti teri mukazi nnabukalu.

Wabula oluusi engeri gye bazannyamu oluusi y’ereetawo okukala mu bukyala ensulo ne zizibikira.

Abakyala abamu bagamba nti we batandikira okwegatta baba n’ag’emugga, wabula oluvannyuma ate ne gakala.

Kino oluusi kiva ku musajja, wadde nga n’abakazi bennyini bavunaanyizibwa ku kukendeera kw’ag’emugga nga bali mu kikolwa.

ENSOBI Z’ABASAJJA EZIKENDEEZA AG’EMUGGA

1 Okukozesa amaanyi amangi, naddala nga munno takikusabye kimutta apetayiti era kizibu okusigala ng’ag’emugga gakyakulukuta kubanga ayinza okutandika okulumizibwa.

2 Obutamanya ngeri ntuufu ya kunywegera. Okunywegera kirungo kikulu mu kusinda omukwano era omusajja bw’aba tamanyi kukikola mu ngeri ntuufu munne amwetamwa era kizibu okusigala ng’alina obwagazi n’okuseereza ekkubo.

3 Obutalaga nti ofaayo ku ky’oliko. Abasajja abamu bw’atuuka mu kikolwa yeefaako yekka n’atawembejja ku munne, sso nga kino kyongera obwagazi era n’afuna ag’emugga.

4 Okumuyita erinnya ly’omukazi omulala kimukanga era kizibu okusigala ng’akyanyumirwa ebigenda mu maaso n’asigaza n’agemugga.

5 Obucaafu nabwo bukanga omukazi n’asiba n’ag’emugga. Okugeza muyinza okuba nga mwatandise okwegatta nga munno takwetegerezza, wabula bwe mweyambula n’afuna ekimukanga obwagazi budduka era n’amazzi ne gakala.

6 Okutuukira mu bukyala nakyo oluusi kiremesa omukazi okusigala ng’asumulula ag’emugga, naddala bw’oba okikoze nga tannakyagala.

7 Okumukyusakyusa buli kiseera ng’oleeta sitayiro ez’enjawulo. Kiba kirungi bw’oba olina gy’okyusizza n’omuwa ebbanga n’agimanyiira. Buli lw’okyusa buli ddakiika bimutama era tekiwa bwongo bwe bbanga okufumiitiriza n’okunyumirwa sitayiro zino ekikosa ttaapu ze.

8. Obutamanya bifo biterese obwagazi bw’omukazi nayo nsonga nkulu kuba gy’okoma okuwammantira mu bifo ebikyamu kikosa omukazi kuba tafuna bwagazi bumala ate nga buno bwe bumuyamba okusumulula ag’emugga.

9 Okumulekera okukola buli kimu. Okugeza waliwo abasajja abatavaamu wadde eddoboozi. Ab’ekika kino tebanyumisa mukwano era kizibu omukazi okunyumirwa n’okuweza ag’emugga.

10 Omusajja okulemwa okwewanirira n’ateeka ku munne obuzito bwonna. Wano omukazi abulwako obwekyusizo era ne bw’aba n’obwagazi buyinza okumuggwaako.

11 Okumuwemula nga tabyagala. Waliwo abakitwala nti buli omu anyumirwa okumuwemula nga muli mu kaboozi.

Abantu abamu ebigambo bino ate bibamalako obwagazi, noolwekyo omukazi bw’aba tabyagala ate n’obiremerako kyangu okubulwa obwagazi.

 baagalana nga bali mu mukwano mukazi bwomusitulako ngono kizibu obutafuna bwagazi Abaagalana nga bali mu mukwano. Omukazi bw’omusitulako ng’ono kizibu obutafuna bwagazi.

 

ENSULO Y’AGEMUGGA

Dr. Munir Wakko okuva mu ddwaaliro lya AAR agamba nti amazzi gano galeetebwa kawagamubiri (hormone) eyitibwa ‘oestrogen’ ate nga waliwo ensanjabavu z’omubiri obugaleeta eziyitibwa ‘Bartholin and skene glands’, ne ‘cervical glands’.

Bino byonna biyamba omukazi okufuna ag’emugga era nga byeggula ng’omukazi afunye obwagazi, era okuvaayo omukazi asooka kukiteeka mu bwongo bwe nti agenda kwegatta olwo nago ne geekuηηaanya nga gafuluma.

Dr. Wakko ayongerako nti amazzi gano omukazi okugakuuma mu mubiri kiva ku byakulya nga okunywa ennyo amazzi, obushera, amata ne bbongo, ebibala ng’emiyembe, wootameroni, ennanansi, ne beetroot bireeta ag’emugga era ye takkiriziganga n’abo abagamba nti okugafuna olina kumala kunywa biragalalagala.

EBIBUZA AG’EMUGGA

1.Obutaba na ssanyu n’okuba n’ebirowoozo.  Okulya ennyo butto kuba bw’atuuka mu mubiri afuuka asidi ataataaganya enkola y’ag’emugga.

2.Okwemanyiiza okukozesa eddagala erifunza obukyala n’erizzaako embeerera. Buli lw’osonseka eddagala lyonna mu bifo bino lirina engeri gye likosa embeera yaawo ne kizibikiza ensulo.

3.Okwegatta ng’omusajja tasoose kuteekateeka bulungi mukazi nakyo kibuza ag’emugga. `

Abasajja abasinga olukwata mu bukyala n’awulirayo akaseerera nga yeeyuna kuyingira. Kino si kituufu.

Mu nkola entuufu, omusajja yandisoose n’alinda amazzi agaseerera ne gasooka gaggwaayo, omukazi n’aleeta agalinga amazzi nga gaweddemu olunyiranyira, olwo n’alyoka atandika emikolo, era omukazi atuuse ku ssa lino tayinza kukala nga mukyegatta.

4.Endwadde z’ekikaba ezitajjanjabibwa mu budde nazo zireka enkovu mu bitundu by’ekyama ekiremesa omukazi okufuna obwagazi okuweza ag’emugga.

Ruth Nalwanga abuulirira abafumbo ku nsonga z’ekisenge agamba nti omusajja olina by’osobola okukola okumalawo embeera eno.

1 Munno munoonye bulungi nga temunneegatta. Kino kijja kumwongera okufuna obwagazi.

2 Mubuuze essira w’olina okulissa nga mwegatta. Kino kijja kukuyamba okukola ebyo ebimusanyusa.

3 Beera muyiiya nga muli mu kikolwa kimuyambe okumuteeka ku bunkenke buli kiseera ng’alindirira akapya k’omuleetedde. Kino kijja kumwongera obwagazi.

4 Musabe olukusa nga temunnatandika nsonga za mu kitanda. Kino bw’onookikola ajja kukulaga ekkubo oleme kutomera bisenge kuba kino nakyo kimalako abakazi abamu apetayiti.

5 Akaboozi kawe ekitiibwa, okugeza essimu giggyeeko ereme kukuwugula ng’evuze oba ng’owulidde kamesegi ke bakuweerezza.

6 Weeyonje oleme kukaluubiriza munno mu ngeri yonna. Wabula

Nalwanga agamba nti n’omukazi ovunaanyizibwa okwekuuma ng’olina ag’emugga okutuusa lwe mumalako omuzannyo.

Kino osobola okukituukako bw’okola bino wammanga;

1 Teekayo ebirowoozo ku kye mukola era laga nti naawe oyagala nnyo ebigenda mu maaso.

2 Munno mugambe era omulagirire awasinga okuva obwagazi bwo akwatewo naawe onyumirwe okutuusa lw’onoomalamu akagoba.

3 Omukazi naawe ovunaanyizibwa okunoonya munno n’okukola ebyo ebimwongera amaanyi asobole okutuukiriza omulimu obulungi.

4 Munno bw’aba ayagala okukyusa okudda ku sitayiro eziyinza okukubuza ag’emugga mugambe aleme kukikola okusinga okumuleka n’akola ky’otoyagala.

5 Weewale okuyingira ekisaawe ng’olina obusungu kuba kijja kukubeerera kizibu okuweza ag’emugga ng’ebirowoozo byo tebitebenkedde.

 isekka Kisekka

 

Maama w’abaana bwe muyimbiramu ng’asumulula

John Kisekka annyonnyola ku ngeri gy’akwatamu mukazi we obutakalira nga bali mu mukwano:

Mukyala wange mmaze naye emyaka 5 era nga tulina abaana bataano era tulina essuubi nti tukyafuna abaana abalala.

Ekimu ku binywezezza omukwano gwaffe kwe kuba nga buli omu afaayo nnyo eri munne. Bwe tuba tugenda okwesanyusaamu eby’ekikulu, nsooka kumuwaanawaana okulaba nti asanyuka era ne ndeeta emboozi ezikwatagana ku mukwano asobole okukiteeka mu bwongo nti tugenda kwesanyusa.

Bwe tutuuka mu kitanda ntandika na kumuweeweeta nga bwe mmubuuza awasinga okumucamula era ne nteekawo amaanyi okutuusa lwe ndaba nga ddala obwagazi bweyongera.

Ate bw’anzikiriza okutabaala amatwale ge, era nsigala mmunoonya mu ngeri y’okumuweeweeta nga kwe ngasse n’okumuwaana.

Oluusi mmanyi n’okumuyimbiramu olwo ye n’ampita amannya gonna agannyongera endasi ne nkwazza olubimbi.

Bino byonna bimukuuma ng’ensulo nzibukufu bulungi era simulabangako ng’akalidde.

Kantwale omukisa guno okumutumirako mukyala wange Joan Nansubuga era ne mmwebaza okunfumbira ebbanga eryo lyonna, era y’ansingira bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...