TOP

Ensundo ziva ku ki?

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2017

NDI muvubuka wa myaka 28 naye nnina ensundo nnyingi ku busajja bwange, olowooza ziva kuki?

Newsengalogob 703x422

NDI muvubuka wa myaka 28 naye nnina ensundo nnyingi ku busajja bwange, olowooza ziva kuki?

Ensundo ku busajja oba mu bukyala bulwadde bwa kikaba, era ziyitibwa ‘genital warts’. Ozifuna mu kwegatta naye ekirungi ensundo zisobola okuwona, teziringa mbaluka ezitawona.

Mwana wange ensundo oba nnyingi kati zikuze era zigenda kutandika okukuleetera amabwa era n’okuwunya ennyo.

Abantu abasinga abalina ensundo balowooza nti balina kabootongo, ate mu bakyala abamu balowooza nti baabaloga ate nga bambi bulwadde bwa kikaba.

Mwana wange olina okugenda mu ddwaaliro eddene owone ensundo zino. Kubanga ssinga teziwona kiba kyangu okufuna obulwadde bw’ekikaba nga siriimu.

Ekirala olina okugenda n’omukyala mu ddwaaliro. Anti tomanya oyinza okuba nga wazimusiiga.

Okuwona ensundo obulungi agenze e Mulago omukadde nnamba 12 asinga. Abasawo bangi nga mulimu n’abafere balya ssente z’abantu.

Ensundo bazookya era zeetaaga musawo nga mutendeke ku nsonga eno. Genda mu ddwaaliro mu nnamba 12 be bazisobola togeza okugenda awalala kubanga tebajja kukuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono